TOP
  • Home
  • Buganda
  • Katikkiro asoomoozezza abayivu mu ggwanga

Katikkiro asoomoozezza abayivu mu ggwanga

By Dickson Kulumba

Added 15th July 2018

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asoomoozezza abayivu n’abantu b’obuvunaanyizibwa mu ggwanga okuwandiika n’okusoma ebitabo.

Kwata 703x422

Mayiga ng’abuuza ku Polof. Lwanga Lunyiigo. Ku kkono ye Apollo Makubuya omumyuka owookubiri owa Katikkiro.

Agambye nti kino kigenda kubayamba okukuuma ebyafaayo mu butuufu bwabyo kireme kuwa balala mukisa okubitaputa kifuulannenge.

Bino yabyogeredde mu musomo ogwategekeddwa okutunuulira ebyafaayo bya Ssekabaka Mwanga II omuli; Obulamu bwe, ebikolwa n’okusoomoozebwa kwe yayitamu ku mulembe gwe.

Omukolo gwabadde ku Hotel Africana ku Lwokutaano. “ Okusinziira ku mulembe gwe tulimu, anaalya ensi eno alina kubeera omumanyi n’olwekyo mbakuutira okusoma n’okuwandiika ebitabo.

Bangi mulina ebyafaayo bingi naye oli afa ebimwogerwako ne bibeera byakupangirira. Buganda tesobola kudda ku ntikko nga tetusoma wadde okuwandiika” Mayiga bwe yasabye.

Polof. Lwanga Lunyiigo ng’ono Musomesa wa Byafaayo era omu ku bawabuzi ba Pulezidenti Museveni, ye yabadde omusomesa omukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...