TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka bamuzimbidde ekizimbe amakula ng'ekirabo kya 'Jubireewo'

Kabaka bamuzimbidde ekizimbe amakula ng'ekirabo kya 'Jubireewo'

By Dickson Kulumba

Added 16th July 2018

EKIZIMBE Buganda ky'egenda okukwasa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’ekirabo era ekijjukizo ky’amatikkira g’emyaka 25 bukya atuuzibwa ku Nnamulondo ya Bajjajjabe kinatera okuggyibwako engalo ng’ekiseera ky’emikolo egy’oku ntikko ginaatera okutuuka.

Kizimbemulondo2 703x422

Ekizimbe ekituumiddwa Kabaka Mulondo ekizimbibwa ku Buganda Royal Institute kinaatera okumalirizibwa. Kigenda kukwasibwa Kabaka nga July 27,2018 ng'ekirabo ky'amatikkira ag'emyaka 25.

Kabaka yasiima ekizimbe kino kiyitibwe erinnya 'Kabaka Mulondo' nga kiva ku kyafaayo kya Jjajjawe Kabaka Mulondo eyalya Obwakabaka buno nga muto bwe batyo bakojjabe ab’obutikko ne bamubajjira entebe kw'alina okutuula ng’eyitibwa Nnamulondo.

Okuva olwo entebe Kabaka kw'atuula okulamula Obuganda eyitibwa Nnamulondo ng’ekyafaayo kino kizze kikuumibwa Obuganda okutuuka ku mulembe guno.

Olunaku lwa leero Bukedde atuuseko ku Buganda Royal Institute e Kakeeka- Mmengo awazimbiddwa ekizimbe kino n'asanga ng’omulimu gugenda mu maaso wakati mu kwetegekera okukwasa Kabaka ekizimbe kino amakula ku lwa July 27,2018.

Mu ngeri y’emu minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza e Mmengo, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma alambuziddwa omulimu guno era akulira ettendekero lino, Anthony Wamala n'ategeeza nti bakola misana na kiro okulaba nti Kabaka w'anaatuukira okujja mu kifo kino nga kiyooyoote bulungi era ekiweesa ekitiibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...