TOP
  • Home
  • Buganda
  • Aboomusu basonze obukadde 30 okuzimbe obutaka bwabwe

Aboomusu basonze obukadde 30 okuzimbe obutaka bwabwe

By Dickson Kulumba

Added 23rd July 2018

MINISITA avunaanyizibwa ku kulambula kwa Kabaka, bulungibwansi n’ekikulu ky’abantu mu Buganda, Mariam Nkalubo Mayanja asabye abakulu mu bika okuwa abakyala abaweereza ekika kyabwe ng’eno y’emu ku ngeri ebika mwebigenda okuyita okweyongera amaanyi.

Musukusonda2 703x422

Omutaka Omukulu w'ekika ky'Omusu Samuel Bulega Muyingo nga yebaza omu ku bazzukkulu be Paul Wamala abasonze ssente z'okukulakulanya Obutaka bw'ekika kino e Ssama. Babadde ku Buziga Country Resort mu ggombolola Mutuba III Makindye- Kampala mu Kyadondo nga July 21,2018. Wakati ye Katikkiro w'ekika Zizinga Nsimbe.

Bino yabyogeredde ku mukolo abeddira ekika ky’Omusu kwebasondedde ssente ku Pulojekiti y’okukulaakulanya Obutaka bwabwe e Ssama Mawokota nga mu kusooka bagenda kuteekawo enju y’Omukulu w’ekika oluvannyuma baddeko ebintu.

Omukolo gwabadde ku Buziga Country Resort mu ggombolola ya Mutuba III Makindye- Kampala mu Kyadondo ku Lwomukaaga July 21, 2018.

“Ndowooza okugenda mu maaso n’enkulaakulana naffe abakyala twetaaga okuweebwa obuvunaanyizibwa okuwereeza ekika kubanga ffe tusinga obwesigwa mu kukwata ensimbi, okukunga abantu ate n’okwogera nabo obulungi n’olwekyo nsaba Jjajja ekyo kitunulwemu,” Minisita Mariam Mayanja bweyategeezezza.

Ate ye omukulu w’ekika yakubirizza bazzukkulu be okukomya okwenyooma olwaabo ababayita abatono ng'ate balina amaanyi agasobola okukola ebintu by’enkulaakulana mu kika ng’ebika ebirala, bw'atyo n'abasaba obutamuswaza kubanga yawera mu maaso ga Kabaka nga bw'agenda okukulemberamu bazzukkulu be okukyusa obutaka bwabwe e Ssama bufuuke ekibuga.

Omwaka oguwedde ab'Omusu batandika enteekateeka z’okukulaakulanya obutaka bwabwe nga bakolako ebintu eby’enjawulo era mu bbanga lino bazze basonda ensimbi ez’okusooka okuzimba enju y'omutaka ey’okuwemmenta obukadde 500. Baasonzeewo  obukadde 30 mu mpeke n’ebisuubizo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hip2 220x290

Owa boda eyabbye embuzi asimattuse...

Owa boda eyabbye embuzi asimattuse

Gonya1 220x290

Goonya abadde atigomya abatuuze...

GOONYA abadde atigomya abatuuze b’ekyalo Tonya ekisangibwa mu disitulikiti y’e Hoima e Bunyoro akwatiddwa abakugu...

Lak1 220x290

Be baakutte n’ente enzibe balula...

Be baakutte n’ente enzibe balula

Fat1 220x290

Omugagga Kagimu ne banne ebyabwe...

Omugagga Kagimu ne banne ebyabwe bibi

Hip1 220x290

Taata eyafiiriddwa abaana 3 apooca...

Taata eyafiiriddwa abaana 3 apooca