TOP
  • Home
  • Buganda
  • Obumu bulina kutandikira mu bika - Mayiga

Obumu bulina kutandikira mu bika - Mayiga

By Dickson Kulumba

Added 23rd July 2018

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti obumu bulina kutandikira mu bika ne bulyoka busasaanira awalala n'alabula nti okwerumaaluma n’okujeemera abakulu b’ebika kusinze kudibagibwa abaamasiga, emituba n’ennyiriri.

Anga 703x422

Katikkiro Mayiga ng'aliko byayogera n'abamu ku bakulu b'ebika okuli Omutaka Nakirembeka Allan Waliggo, Lwommwa Daniel Bbosa (ku kkono), Kayiira Gajuule Ffredrick Kasibante ate ku ddyo ye Samuel Walugembe Ow'Ababiito b'e Kibulala. Babadde mu Ttabamiruka w'Abamasiga mu bika nga July 20,2018 mu Lubiri e Mmengo.

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti obumu bulina kutandikira mu bika ne bulyoka busasaanira awalala n'alabula nti okwerumaaluma n’okujeemera abakulu b’ebika kusinze kudibagibwa abaamasiga, emituba n’ennyiriri.

Bino Katikkiro yabyogeredde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokutaano july 20, 2018 bwe yabadde aggalawo olusirika lw’abaamasiga mu bika nga luno lwetabiddwako n’abamu ku bataka abakulu b’ebika mu Buganda.

“ Buganda tesobola kudda ku ntikko ng’ebika tebitereezeddwa bulungi. Obumu bulina kutandikira mu bika  era nga kino kirina kukolebwako mwe abaamasiga kubanga mwe mubeera n’abazzukkulu bano okusinga. Ate ne bwekibeera kyakubakunga kukola mirimu gya  kika ng’okuteeka ebibumbe ku Kabakanjagala, mulina okuvaayo n’amaanyi muyambe ku bakadde bamwe,” Mayiga bwe yategeezezza ku buvunaanyizibwa bw’abamasiga mu bika.

Ate ku ky’okussa ekitiibwa mu kusalawo okubeera kukoleddwa Kabaka ku misango gy’ebika, yalabudde abaamasiga okukuteekanga mu nkola kubanga bwe banyooma okusalawo kwa Kabaka kitegeeza tebajja kuwulira bakadde baabwe, abakulu b’ebika.

Katikkiro era yakubirizza ebika okuteekawo enteekateeka z’okwekulaakulanya ku mitendera gyonna okuviira ddala ku kasolya, amasiga, emituba, ennyiriri n’empya ng’ebibiina by’obwegassi bino byakuyamba nnyo okusitula eby’enfuna byabwe.

“ Ettaka ly’amasiga libeera ttaka lya kika n’eddala ku mitendera emirala bwerityo, teririna kutwalibwa nga lya muntu Ssekinoomu. Wano wetusabira ettaka n’ebyobugagga byonna eby’ebika okuwandiisibwa mu mannya g’olukiiko lw’abayima b’ekika ekyo,” Mayiga bwewadde amagezi ku kukuuma ettaka ly’ebika erigenda lisanaawo.

Omutaka Kayiira Gajuule Fredrick Kasibante nga ye mukubiriza w’olukiiko lw’abataka abakulu b’ebika yategeezezza nti baliko bingi bye bakkaanyizzaako okukola okulongoosa entambula y’ebika bino okuli okubanja mayiro omunaana eza buli kika okuva mu Gavumenti eya wakati, okutegekanga emisomo egibangula abakulembeze b’ebifundikwa okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe, ebika okukola pulojekiti, okunyweza enkiiko z’abayima n’ebirala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...