TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka waakukubirwa emizinga 25 - Mmengo

Kabaka waakukubirwa emizinga 25 - Mmengo

By Dickson Kulumba

Added 24th July 2018

MMENGO efulumizza enteekateeka egenda okugobererwa mu kujaguza emyaka 25 bukya Kabaka Mutebi II atuula ku Nnamulondo.

United 703x422

Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi lw’Amatikkira Dr. Kaawaase (ku ddyo). Abamuddiridde be baminisita Noah Kiyimba ne Mulema Mukasa ate ku kkono ye Birimuye Matovu, kamisona w’ebyobulambuzi e Mmengo

Ekimu ku bipya ye Kabaka okukubirwa emizinga 25! Dr. Twaha Kaawaase, ssentebe w’olukiiko oluteekateeka amatikkira ga Kabaka ag’omulundi guno yakoowodde abantu ba Buganda bonna okukeera mu Lubiri e Mmengo nga July 31, 2018.

Yalambise bwati emiryango egy’okukozesa:

  • Abantu bagenda kutuula okusinziira ku bika byabwe era mu weema ezo, Kabaka mw’agenda okubagabulira ekyemisana.
  • Kabaka asuubirwa okutuuka ku mukolo ku ssaawa 5:00 ez’oku makya, alamuse Mujaguzo oluvannyuma akongojjebwe.
  • Alina emmotoka nga tekuli sitiika, waakusimba mu maaso ga Kaalaala. Dr. Kaawaase era nga ye Mumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda yagasseeko nti;
  • Abanaakozesa ebigere baakuyingirira mu mulyango oguli ku ludda lw’e Ndeeba ne Wansanso (oludda ku Kalittunsi e Kibuye).
  • Owemmotoka alina sitiika eya bbulu n’emmyuufu waakuyingirira ku geeti ya Lubiri High School (omulyango oguyitibwa Kaalaala).
  • Ku ssaawa 4:00 ez’oku makya abagenyi abayite basuubirwa okuba nga bakkalidde.
  • Abeddira Obutiko nabo bajja kubeera nga bazinira Kabaka. “Abantu abagenda okwetaba mu buli nsonga baamaze dda okuteekebwateekebwa era omuntu ava mu bika bino atateekeddwateekeddwa, tageza n’avaayo olw’ekinyegenyege kuba ajja kuba ataataaganya enteekateeka,” Dr. Kaawaase bwe yayongeddeko. Ebirala ebigenda okuba eby’enjawulo kw’olwo by’ebibiina by’amazina Amaganda okuli ekya Annet Nandujja, Samads ne Tebifaanana Abifuna ebyegasse nga bigenda kuzinira wamu okusanyusa Kabaka n’abagenyi be, amasomero geegasse ne gayimbira Kabaka oluyimba, ate abayimbi bonna abayimbye oluyimba lwa Jubireewo eya 25 nabo baakuyimba.
  • Abakulembeze b’ennono bonna mu ggwanga bonna bayitiddwa.

ENTEEKATEEKA Z’ENNAKU ENDALA

1 Olwaleero ku Lwokubiri nga July 24, 2018: Obwakabaka bugenda kutongoza amazzi ga ‘Olwendo Kattannyonta’ era ku mukolo gwe gumu Katikkiro Charles Peter Mayiga waakutikkula bonna abagenda okujja n’ensimbi n’ebintu ebikalu ebinaayamba mu nteekateeka y’emikolo.

2 Ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo olwaleero: Kabaka agenda kukwasibwa omutendera ogusooka ogw’omulimu ogukoleddwa okuyooyoota Twekobe (oguyitibwa Twekobe ejjudde) mu Lubiri e Mmengo

3 Ku Lwokuna nga July 26, 2018: Akasiki k’amatikkira ak’oku ntikko ka kubeera ku Liquid Silk e Naalya. Osasula tikiti ya 100,000/- n’olya ekyeggulo. Ate bw’oba waakwetaba mu mazina gokka, osasula 50,000/- ng’Omumbejja Joan Nassolo y’agenda okubeera omugenyi omukulu.

4 Ku Lwokutaano nga July 27, 2018: Ku ssaawa 4:00 Kabaka waakukwasibwa ekizimbe ‘Kabaka Mulondo’ ate ye Beene akwase ab’ettendekero lya Buganda Royal Institute awazimbiddwa ekizimbe kino, bbaasi kapyata.

5 Wagenda kubaawo okusabira Kabaka n’Obuganda okuva ku Lwokutaano nga July 27, 2018 mu mizikiti gyonna mu Buganda, mu Badiventi nga July 28, ne mu makanisa ne Klezia ku Ssande nga July 29, 2018.

6 Emyaka giweze 52 nga tewali Katikkiro wa Buganda asula mu maka amatongole ‘Butikkiro’. Ku Lwomukaaga nga July 28, 2018, Katikkiro Mayiga agenda kuddamu okukozesa amaka gano.

7 Ku Ssande nga July 29, 2018 kabaka w’Obwakabaka bwe Asante e Ghana Otumfuo Nana Osei Tutu II lw’atuuka mu ggwanga.

8 Kabaka Mutebi II waakumwaniriza mu butongole nga July 30, 2018 olwo yeetabe ku mukolo gw’Amatikkira ate nga August 2, 2018 alambule ekkolero ly’eddagala erya Cipla.

9 Nga August 13, 2018: Kabaka lw’ajja okuggalawo omwaka gw’Olukiiko olwa 25 n’okuggulawo Olukiiko lwa Buganda olwa 26.

Enteekateeka eno yafulumiziddwa mu lukiiko olwabadde ku Bulange e Mmengo nga lwetabiddwaamu baminisita Noah Kiyimba wa byamawulire era omwogezi w’Obwakabaka ne Richard Mulema Mukasa, omubeezi Owebyensimbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda