TOP

K2 ne Airtel basse omukago

By Dickson Kulumba

Added 28th July 2018

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka bwakwongera okweyambisa ebyempuliziganya ng’erimu ku makubo g’okutumbula ebyobuwangwa ng’eno y’ensonga lwaki K2 ey’Obwakabaka esse omukago ne kkampuni ya airtel.

K2neairtel5 703x422

Akulira emirimu mu K2 ne munne bwebakola ogumu mu Airtel, VG Somesekhar nga balaga endagaano ezaatereddwako emikono wakati wa kkampuni zombi. EKIF: DICKSON KULUMBA

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka bwakwongera okweyambisa ebyempuliziganya ng’erimu ku makubo g’okutumbula ebyobuwangwa ng’eno y’ensonga lwaki K2 ey’Obwakabaka esse omukago ne kkampuni ya airtel.

Baabadde Bulange - Mmengo ku Lwokutaano, n’ayanjula K2 ezziddwa obuggya mu kampeyini atuumiddwa ‘Hello Buganda. K2 Ejjudde’.

“Yonna gye ntambulira bambuuza K2 eddako ddi? Kirungi nti abantu baffe bagumiikiriza.

Nneebaza aba airtel okutegeera bizinensi ne basalawo okukola naffe omukago. Ku mulundi guno K2 ekomyewo ku mpewo ng’ejjudde kubanga buli kimu omuntu kyayagala okusanga ku ssimu okuli yintaneeti kwe biri, noolwekyo muddemu mugikozese”, bwe yabasabye.

Mu ntegeeragana eno empya, kkampuni ya Airtel egenda kuguza abantu obuwereeza bwa K2 ng’obutunzi obuva mw’ekyo bugabanwa mu magoba agafuniddwa.

Omuwanika wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa yategezezza nti ennamba z’omukutu guno ezibadde 0730 zikyusiddwa, ne zidda ku 0708 bwatyo ne yeebaza ekitongole ky’empuliziganya mu ggwanga (UCC) olw’okusobozesa enteekateeka eno okukolebwa.

Maria Kiwanuka yalaze obukulu bw’okubeerawo kwa K2 kubanga egenda kwongera okutumbula olulimi Oluganda lweyongere okumanyibwa mu nsi yonna naawa eky’okulabirako kya Katikkiro w’e Buyindi eyabadde kuno gye buvuddeko n'afuuwa budinda Oluganda mu Palamenti ate ne bweyabadde abuuza ku Bayindi abakung'aanidde ku kisaawe e Kololo era yasoose kubalamusamu Luganda nti, ' Musibye mutya"  ekintu ekitegeeza nti ensi eyongedde okukakasa Oluganda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kirumiramuhammad 220x290

Amagye gakutte owa Flying Squad...

AMAGYE gakutte omuserikale wa Flying Squad agambibwa okuba mu by’okutemula Afande Muhammad Kirumira.

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.

Supremenew 220x290

Ndirangwa asabye poliisi esookenga...

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera...

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage