TOP

Kabaka musanyufu ku byenjigiriza

By Dickson Kulumba

Added 29th July 2018

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti mu byenjigiriza n’okuteekateeka obulungi abavubuka mwemutudde amaanyi g’Obwakabaka n’asiima abaaleeta ekirowoozo ky’okukola ekijjukizo ky’Amatikkira ge ag’omulundi ogwa 25 nga kiri ku nsonga y’ebyenjigiriza.

Saba 703x422

Kabaka ng’atongoza ekizimbe ekituumiddwa Kabaka Mulondo. Wakati ye Anthony Wamala akulira ettendekero lino.

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti mu byenjigiriza n’okuteekateeka obulungi abavubuka mwemutudde amaanyi g’Obwakabaka n’asiima abaaleeta ekirowoozo ky’okukola ekijjukizo ky’Amatikkira ge ag’omulundi ogwa 25 nga kiri ku nsonga y’ebyenjigiriza.

Bino yabyogeredde Kakeeka - Mmengo ku Lwokutaano (July 27, 2018) bwe yabadde akwasibwa ekizimbe eky’emyaliiro mukaaga ng’amakula era ekijjukizo ky’Amatikkira ge ag’emyaka 25 nga kino kyateereddwa ku Buganda Royal Institute Of Business & Technical Education nga kyatuumiddwa Kabala Mulondo.

Ku mukolo guno kalabaalaba yabadde Dr. Nankindu Kavuma omubeezi wa Minisita w’ebyenjigiriza. Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga yasabye Kabaka asiime, ensi nga bw’egenda ekyuka abeereko ekika oba ebika by’akwasa obuvunaanyizibwa bw’ebyenjigiriza.

Ekizimbe kino kyazimbiddwa aba Capital Technical & Construction Services abakulirwa Ying. Fredrick Kakooza mu bbanga lya myezi mwenda nga Centenary Bank yataddemu obuwagizi bwamaanyi.

Dr. Twaha Kaawaase yategezezza Kabaka nti, mu kitongole ky’ebyenjigiriza ky’atwala baatandikawo ekitongole ky’ebigezo nga bino bitandise n’okugezesbwa mu bukulembeze bw’ennono obulala.

OKWOGERA KWA SSABASAJJA NGA BAMUKWASA EKIJJUKIZO

 

Katusooke n’okwebaza bannaffe abaaleeta ekirowoozo ky’okuzimba ekijjukizo eky’emyaka 25 nga kiri ku nsonga y’ebyenjigiriza, tubayozayoza era tubeebaza. Ekijjukizo kino kitusanyusizza nnyo kubanga kiggyayo bulungi ddala ebirowoozo, amaanyi n’okwewaayo kwaffe ku nsonga y’ebyenjigiriza n’ensonga z’abavubuka kubanga amazima gali nti mu byebjigiriza n’okuteekateeka obulungi abavubuka baffe awo we watudde amaanyi g’Obwakabaka bwabwe era twebaza abo bonna abeenyigidde mu nsonga ezo era abalina emirimu mu bintu ebyo, mwebale nnyo mwebalire ddala. Twebaza ekitongole ky’ebyenjigiriza n’olukiiko olufuzi olw’ettendekero lino olw’omulimu omulungi guno era tusiima nnyo Mw. Antony Wamala akulira ettendekero lino ne banne abakoze omulimu guno era tubeebaza olw’obukulembeze obulungi. Era tusaba abakulembeze baffe bonna abalala okukola obutebalira nga baweereddwa obuvunaanyizibwa obw’engeri eno. Twebaza bannaffe bonna aba Buganda Royal Institute namwe mmwenna abazze ku mukolo guno awamu ne bannaffe mwenna abatusanyusizza. Tusiimye nnyo. Twebaza abo bonna abatuwadde obubaka obubadde mu bigambo ebyogeddwa, mwebale nnyo era tusiimye era njagala okwebaza abo abatuleetedde amakula. Katonda abakuume.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...