TOP
  • Home
  • Buganda
  • Poliisi erambise entambula y’ebidduka ku gya Jubireewo

Poliisi erambise entambula y’ebidduka ku gya Jubireewo

By Musasi wa Bukedde

Added 31st July 2018

POLIISI erambise entambula y’ebidduka ku nguudo ezeetoolodde Olubiri e Mmengo mu kukuza emikolo gya Jubireewo.

Asantekingmeetingkabakaatbulange3 703x422

Oluguudo lwa Kabakanjagala lugenda kukeera kuggalwa, Kabaka y’agenda okulukozesa n’abagenyi be abalondemu abatono ennyo abagenda okuyingirira mu mulyango gwa Wankaaki.

Mmotoka eterina ‘sitiika’ tegenda kukkirizibwa kuyingira mu Lubiri kyokka n’ezo ezikkiriziddwa zaakukozesa emiryango egyenjawulo egitali wankaaki.

Mmotoka z’abagenyi abalala abayite ab’enjawulo zaakuyingira nga zikozesa omulyango ogutunudde mu Kisenyi okuva ku luguudo lwa Musajjaalumbwa olwo ttulafi ki ebalagirire bayingirire mu ggeeti ya Lubiri High era mmotoka baakuzisimba mu kisaawe ky’essomero.

Abantu baabulijjo abatalina kaadi nabo baakuyingira nga bakozesa geeti ya Lubiri High mmotoka bazisimbe ku Lubiri High.

Bino byategeezeddwa aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano, Moses Kafeero n’akulira poliisi y’ebidduka mu Kampala, Norman Musinga mu lukung’aana lw’abaamawulire lwe baatuuzizza ku kitebe kya poliisi e Naggulu eggulo ku Mmande.

Musinga yategeezezza nti abagenyi abalala abayingira mu Lubiri, awagenda okubeera emikolo, baakukozesa Lubiri Ring Road, Mutebi Road, Kisenyi badde mu Ndeeba.

Bano emmotoka baakuzireka wansi ku nnyanja ya Kabaka batambuze bigere okuyingira mu Lubiri nga bayita mu mulyango ogutunudde mu Ndeeba.

Abantu bonna ku nguudo kwe banaayingirira baakubeera nga balagirirwa poliisi y’ebidduka.

Musinga yategeezezza nti emikolo nga giwedde, mmotoka zaakufuluma nga zikozesa amakubo ge zaakozesezza mu kuyingira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...