TOP
  • Home
  • Buganda
  • Olubiri lwa Ssekabaka Muteesa lufuuliddwa ssomero

Olubiri lwa Ssekabaka Muteesa lufuuliddwa ssomero

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd August 2018

Olubiri lwa Ssekabaka Muteesa I, olwazimbibwa ku mwalo gwe Lukunyu ku kizinga ky’e Nangooma mu ssaza ly’e Kakuuto mu Disitulikiti y’e Kyotera, lufuuliddwa ssomero ly’abayizi ba Pulayimale, oluvannyuma lw’abatuuze ku kizinga ekyo okubeera nga balinako essomero eriri ku musingi gwa Gavumenti limu lyokka.

Fuse 703x422

Olubiri lwa Ssekabaka Muteesa I lwe yazimba ku kizinga ky’e Lukunyu abaana mwe basomera.

BYA PASCAL LUTABI

Ssentebe w’ekizinga ky’e Lukunyu, Joseph Ssemwogerere agamba nti ng’Obuganda bujagulizaako Kabaka Ronald Muwenda Mutebi -2 okuweza emyaka 25, baasazeewo okubbulamu essomero lye batadde mu lubiri lwa Ssekabaka Muteesa I lwe yabalekera erinnya lye ng’akabonero ak’okumujjukira awamu n’okusiima Obuganda by’ebakoledde.

Essomero liyitibwa Muteesa -1 Nursery and Primary School. Mu ngeri y’emu essomero erimu eriri mu ggombolola y’e Nangooma basazeewo kutandikawo ssomero eryo lisobole okutumbula ebyenjigiriza mu kitundu kyabwe.

Ssentebe Ssemwogerere agamba nti ebyenjigiriza mu ggombolola yaabwe, bikyabakaluubiriza olw’ebbula ly’abasomesa abalungi, ng’abaliyo si batendeke.

Ssemwogerere yagasseeko nti olugendo okuva ku mwalo gw’e Lukunyu okugenda ku ssomero erimu lye balina erye Nangooma luwanvu nnyo.

Abatuuze basabye obukulembeze bwa disitulikiti ey’e Kyotera, okubadduukirira n’obuyambi nga entebe ezituulwako ne kaabuyonjo, basobole okutumbula ebyenjigiriza mu ssomero lyabwe eppya eryabbuddwaamu Ssekabaka Muteesa.

Robinah Ssentongo Nakasirye omubaka omukazi ow’ekitundu mu Palamenti, ng’ayogerako ne Bukedde yasabye Gavumenti okuteeka mu nkola ekisuubizo ky’okwongera ku bakozi ba gavumenti emisaala naddala abakola mu bizinga nga bino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ggwanika1 220x290

Ab'eddwaaliro ly'e Kamuli batubidde...

Poliisi y’e Kamuli n’abakulira eddwaliro ly’e Kamuli batubidde n’omulambo ogw’omukazi eyabadde olubuto olukulu...

Eddwalirolyebutengahealthcentreiv 220x290

Eddwaaliro ly'e Bukomansimbi lisaliddwaako...

Abatuuze b'e Bukomansimbi bali mu katuubagiro olw'eddwaliro erisinga obunene mu disitulikiti eno okusalibwako amasannyalaze...

Omuyimbi Branic bamukutte mu liiso...

EKUBA omunaku tekya naye eri ku muyimbi Branic Benzie, baasula nabo be bamutegeera.

Very 220x290

Muwala nze wendi okukuteekamu ebinusu...

OMUYIMBI Nicklass amanyiddwa nga Kabaka wa Ghetto mu Uganda yatuuse ku mukolo ogumu e Zzana gye yabadde yayitiddwa...

Flavia1 220x290

Omukazi avuuniddwa kuguza abayeekera...

Akech kigambibwa nti y'omu ku bantu abaludde nga baguza abayeekera mu South Sudan emmundu ng'ono azijja mu Uganda....