TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka mwennyamivu olw'abantu be abaafiiridde mu kwekalakaasa

Kabaka mwennyamivu olw'abantu be abaafiiridde mu kwekalakaasa

By Dickson Kulumba

Added 5th September 2018

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II ategEezezza nga bw'ali mu kunyolwa olw’abantu be abawerako abattiddwa mu kwekalakAasa okubadde kubUutikidde eggwanga naddala mu mwezi oguwedde, bw'atyo n'avumirira ebikolwa by’obukambwe ebisusse okukolebwa ku bantu.

Bukalagikufa2 703x422

Minisita Omubeezi okuva e Mmengo Joseph Kawuki ng'ali n'abakungu okuva e Mmengo nga bali mu kifananyi ne bamulekwa b'Omugenzi Vicent Sseruganya e Bukalagi- Gomba nga September 4,2018 e Bukalagi- Gomba.

Bino biri mu bubaka obwokusaasira obwamuwandiikiddwa omuwandiisi we ow’ekyama, Peter Mpanga nga August 30, 2018 okutuusibwa ku ba amire y’omugenzi Vicent Sserungaya, eyattibwa nga August 23,2018 e Bukalagi- Gomba abantu bwe beekalakaasa olwa kye baayita okutyoboola eddembe ly’omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine ng’era nzaalwa y’e Gomba.

“Eri ab’enju ya Vicent Sserungaya e Bukalagi-Gomba. Bannaffe Ssabasajja Kabaka yanyolwa byansusso oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okuttibwa kwa Vicent Sserungaya atalina musango gwazzizza. Ekikolwa kino eky’obukambwe kyennyamiza era kivumirirwa. Kisaanidde abakuumaddembe banoonyereze abaali mu bukambwe buno batwalibwe mu mbuga z’amateeka okukolebwako nga bwe kisanidde,” Obubaka obwasomeddwa minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki bwe bwasomye nga bwatuusiddwa nga September 4, 2018 ku Lwokubiri.

Ku lulwe, Kawuki yagambye nti Obwakabaka buli mu kunyolwa kubanga abangi ku bantu abafudde mu kwekalakasa kuno bali mu Buganda wadde nga tebwagala bigende mu bitundu ebirala wabula busaba abali mu buyinza okukendeeza ku lyanyi erikozesebwa mu kukakkanya obwegugungo.

“Mbakubiriza okukuza abaana nga mubalaga ekifaananyi ekituufu, bwe munaabakuza obulungi, bajja kuvaamu abatuuze abalungi abatakole bikolwa nga bino. Okusinzira ku bitunyumiriziddwa kiraga nti abakoze ekikolwa ky’okutta Sserungaya bakadde baabwe tebabalungamya nebakula n’emitima emikakanyavu kubanga omuntu eyakuzibwa obulungi tasobola kukola kino,” Kawuki bweyategezezza.

Kawuki wamu n’abakungu beyatambudde nabo okwabadde Omwami w’essaza ly’e Gomba, Kitunzi Jackson Musisi n’Omumyuka we Abbas Lukwago, Omumyuka wa Katambala Hajj Sulaiman Magala n’abalala bagenze ku ntaana y’omugenzi nebaganzikako ekimmuli era nebasasira Famire yonna ne Kitaawe w’omugenzi Joseph Kakooza.

 inisita mubeezi oseph awuki ngakwasa owoooluganda lwa icent serungaya ebbaasa omuli ensimbi enkalu okuyamba ku baana Minisita Omubeezi Joseph Kawuki ng'akwasa owoooluganda lwa Vicent Sserungaya, ebbaasa omuli ensimbi enkalu okuyamba ku baana.

Ssentebe w’ekyalo kino Bukalagi- Kabamba, Joseph Ssempigga yasabye Mmengo ekozese eddoboozi lyayo eddene egamba ku gavumenti eyawakati eyongere ku butendeke ate n’okuggyamu bonna abakozesa ebiragalalagala ebintu ebitabakozesa bulungi buvunanyizibwa bwaabwe.

“Baayingira mu nju ne bakuba essasi nga mu ddiiro awo waliwo omwana ayitibwa Mike ne bamuggyamu ne bamuteeka wabweru nga bwe bamukuba. Beeyongerayo mu kisenge ne bamuteekamu obuti wabula yali akutte omwana mu kifuba n'abagamba nti ng'enda kufa n’omwana ono, ekyaddirira kwekumuwalaawala okumuleeta mu ddiiro we baamukubira amasasi. N’olwekyo eyo si ye yandibadde enkola kuba teyali mubbi wadde ookuzza omusango gwonna,” Ssempigga bwe yanyumizza ku byaliwo mu kiro kya August 30,2018 abakuumaddembe lwe baakuba Ssempigga essasi.

Omumyuka wa Katambala, Hajj Sulaiman Magala yeeyamye okuweerera omu ku baana abasukka ekkumi  omugenzi be yaleka ng'agamba nti okusoma kye kimu Ku bigenda okubbulula famire eno.

Omwami w'essaza lino, Jackson Kitunzi Musisi yategeezezza ng'abantu b'e Gomba bwe bakyali mu ntiisa etagambika olw'obukambwe obwolesebwa abaserikale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...