TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muk'omumyuka wa Katikkiro wa Buganda afudde kkookolo

Muk'omumyuka wa Katikkiro wa Buganda afudde kkookolo

By Dickson Kulumba

Added 6th September 2018

STELLA Nansikombi Mukasa Makubuya abadde mukyala w’omumyuka owookusatu owa Katikkiro wa Buganda, Apollo Nelson Makubuya afudde kkookolo amaze ebbanga ng'amutawaanya.

Whatsappimage20180906at1152 703x422

Omugenzi Nansikombi ng'ali bba Makubuya n'abaana baabwe

Okusinziira ku Minisita Joseph Kawuki, akola nga omwogezi wa Buganda mu kiseera kino, omugenzi yafudde mu kiro ekyakeesezza Olwokuna September 6, 2018 mu ddwaaliro eriri mu kibuga Virginia ekya Amerika gye yabadde atwaliddwa okujjanjabibwa.

“Omugenzi yafudde ku ssaawa mwenda n’eddakiika 39 ku makya g’Olwokuna September 6, 2018. Tutuusa okusaasira eri oweekitiibwa Makubuya, famire n’abooluganda bonna olw’okufiirwa omuntu bw'ati abadde akola emirimu gy’amateeka mu bwesigwa era abadde alabirira amaka ge nga mulimu n’okusobozesa oweekitiibwa Makubuya okuweereza Kabaka we obulungi,” Kawuki bwe yategeezezza.

Minisita Kawuki yategeezezza nti enteekateeka z’okukomyawo omubiri gw’omugenzi zikolebwako era n’enteekateeka z’okuziika zaakutegeezebwa abantu b’Obwakabaka mu bwangu ddala.

EBIMU KU BIKWATA KU MUGENZI:

Yasomera Gayaza High School n’amatendekero amalala era  nga yakuguka mu mateeka okuva mu Yunivasite e Makerere ne Dipuloma okuva mu ttendekero ly’amateeka erya Law Development Centre, diguli ey’okubiri mu mateeka okuva mu University of Warwick e Bungereza ng’ebyamateeka abibaddemu n’obumanyirivu obw’emyaka egisukka 20.

Yakolerako mu minisitule y’ekikula ky’abantu mu Gavumenti eya wakati ng’eno yamalayo emyaka etaano nga munnamateeka avunaanyizibwa ku nteekateeka y’okuyamba abantu mu by’amateeka, okunoonyereza n’okukung'anya ebiwandiiko.

Oluvannyuma yavaayo n'atandika kkampuni eyeebuzibwako eyitibwa Nordic Consulting Group (NCG) Uganda Ltd ng’eno yeebuzibwako ku bintu eby’enjawulo mu nsi yonna ng’ebimu ku bijjukirwa okukolebwa ekitongole kino kwe kubeera emabega w’ebirowoozo by’etteeka ly’obutabanguko mu maka (Domestic Violence Act) 2010, okuyambako ensi y’e Rwanda mu nsonga z’ekikula ky’obuntu ezaateekebwa mu Ssemateeka waabwe, yakulemberamu omulimu gw’okukuba ttooci mu Pulogulamu ezikolebwa ebitongole by’amawanga g’Abazungu ebigaba obuyambi ku ngeri gye zitambulamu nga kwaliko ekya Amerika, Bungereza, Denmark (DANIDA), Norway, Australia, ekibiina ky’amawanga amagatte, Ford Foundation n’ebirala.

Ng’ali mu mirimu gino, yakolako ng’omusomesa ow’ekiseera ku Yunivasite e Makerere ng’asomesa amateeka n’eddembe ly’obuntu.

Yaliko ssentebe w’olukiiko olufuga ekibiina Akina Mama wa Afrika ate nabeerako Omumyuka wa Ssentebe w’olukiiko olufuga ActionAid International Uganda saako n’okubeera ku bboodi y’ekitongole ekiyitibwa Open Society Institute East Africa (OSIEA).

Mu 2012, yegatta ku kitongole ekiyitibwa International Center for Research on Women (ICRW) nga y’abadde akulira ofiisi yaakyo etwala Africa ng’etuula Kampala era ng’abadde mulwanirizi w’eddembe ly’abakyala n’okubalambika ng’abalaga nti balina bingi byebasobola okukola n’okutuukako mu bulamu.

Mu buvunaanyizibwa bwe mu ‘ICRW’ yakulemberamu okwekenenya enteekateeka z’ekitongole kya Amerika ekivunanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga n’obusuubuzi ezigenderera okumalawo n’okugonjoola obutabanguko mu kitundu ekiyitibwa ‘pacific region’ ate era nabeera ku ttimu eyabaga pulogulamu y’ensawo (Trust Fund) ey’abavunaniddwa mu kkooti y’ensi yonna ekola ku bazzi b’emisango(co-led an external evaluation of the inaugural program of the Trust Fund for Victims under the International Criminal Court).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...