TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka, baagala abawe n'Obwami

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka, baagala abawe n'Obwami

By Dickson Kulumba

Added 19th September 2018

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye mu Kampala kyokka ensonga zaalyo ne zigootaana mu katyabaga ka 1966 nga baagala balizimbeko ekizimbe ekinaakolanga ekijjukizo wakati w’enkolagana y’Abaganda n’Abanyarwanda.

Banyarwanda2 703x422

Katikkiro Charles Peter Mayiga yasabye abanyarwanda okusigala nga bawereeza Kabaka waabwe nga tebalina kutya kwonna. Wano ng'akutte mu ngalo za Ssentebe w'ekibiina ekitaba Abanyarwanda mu Uganda, Donati Kananura (Ow'okubiri okuva ku kkono). Ku kkono mu maaso ye John Mutenda ate Ow'okusatu okuva ku ddyo mu maaso ye Peter Clever Mutuluuza- Ssentebe wa disitulikiti y'e Mpigi. Bazze e Mmengo nga September19,2018

Okusaba kuno bakukoze ku Lwokusatu September 19, 2018 bwebabadde bakyalidde Katikkiro Charles Peter Mayiga e Bulange- Mmengo nebategeza nti ettaka lino, Muteesa II yaliwa mukwano gwe Rutayigwa eyali akulembera Rwanda.

“ Emu ku nsonga etuleese e Mmengo kwe kulondoola ku nsonga y’ettaka lino kubanga singa lituweebwa twagala okuliteekako ekizimbe ekinakola emirimu egy’enjawulo okuli ne ofiisi zaffe. Ensonga eno twaginyonyola Kabaka bwetwagenda mu Lubiri e Banda mu 2005 ate mu 2007, munnaffe Higiro Ssemajjege eyaliko Omumyuka wa Sipiika w’olukiiko nawandiika ebbaluwa ng’ejjukiza ku nsonga eno,” Donati Kananura nga ye ssentebe w’ekibiina ekitaba Abanyarwanda ababeera mu Uganda bwe yategeezezza.

 atikkiro ayiga ngaliko byagamba ssentebe wekibiina ekitaba banyarwanda mu ganda onati ananura eyakulembedde banne okujja e mengo okwongera okulaga obujjumbize bwabwe ku nsonga za uganda Katikkiro Mayiga ng'aliko byagamba ssentebe w'ekibiina ekitaba Abanyarwanda mu Uganda, Donati Kananura eyakulembedde banne okujja e Mmengo okwongera okulaga obujjumbize bwabwe ku nsonga za Buganda.

Mu ngeri y’emu, bano abeegattira mu kibiina ekiyitibwa Uganda Banyarwanda Cultural Development Association (Umubano) basabye Kabaka asiime alonde omu ku bannaabwe nga wano banokoddeyo  Peter Clever Mutuluuza nga mu kiseera kino ye ssentebe wa LC5 Mpigi okudda mu kifo kya Ssemajjege kuba bukya afa mu December 2013, tebaddangamu kufuna muweereza yenna mu Bwakabaka.

Mu kwanukula, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasoose kubeebaza olw’okwenyigira mu mirimu gy’Obwakabaka ate n’okussa mu Kabaka ekitiibwa n'ategeeza nti kyakulabirako kirungi kubanga Kabaka wa Buganda wabula si Baganda bokka.

atikkiro harles eter ayiga yasabye abanyarwanda okusigala nga bawereeza abaka waabwe nga tebalina kutya kwonna ano ngakutte mu ngalo za sentebe wekibiina ekitaba banyarwanda mu ganda onati ananura wokubiri okuva ku kkono u kkono mu maaso ye ohn utenda ate wokusatu okuva ku ddyo mu maaso ye eter lever utuluuza sentebe wa disitulikiti ye pigi azze e mengo nga eptember192018Katikkiro Charles Peter Mayiga yasabye abanyarwanda okusigala nga bawereeza Kabaka waabwe nga tebalina kutya kwonna. Wano ng'akutte mu ngalo za Ssentebe w'ekibiina ekitaba Abanyarwanda mu Uganda, Donati Kananura (Ow'okubiri okuva ku kkono). Ku kkono mu maaso ye John Mutenda ate Ow'okusatu okuva ku ddyo mu maaso ye Peter Clever Mutuluuza- Ssentebe wa disitulikiti y'e Mpigi. Bazze e Mmengo nga September19,2018

 

“Mwenna muli bantu ba Kabaka nga bwe tubadde wano n’Abayindi, Abazungu n’amawanga amalala. Buganda bw'etyo bw'ezze etambula. Ekirala nze yenna awa Kabaka ekitiibwa mwaniriza wano e Buganda n’olwekyo ensonga zammwe ze mwanjizza leero ng'enda kuzituusa ewa Kabaka, alabe ky'anaabakolera,” Mayiga bwe yategeezezza.

Mayiga yalaze obukulu bw’okunyweza enkolagana wakati w’Abaganda n’Abanyarwanda kubanga emaze ebbanga ddene n'agamba nti talabawo lwaki okusosolagana kwandizeewo okuggyako ng’ekolagana eyingiziddwamu eby’obufuzi.

Abanyarwanda bamaze ebbanga mu Uganda nga baasooka kusenga kuno ku mulembe gwa Ssekabaka Chwa II, ne beeyongera ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II nga kwe baafunira ettaka eryo lye basaba okubaddizibwa e Kibuye mu Kampala. Wadde abamu baddayo e Rwanda, bangi baasigala kuno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...