TOP
  • Home
  • Buganda
  • Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde gya Kabaka

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde gya Kabaka

By Dickson Kulumba

Added 20th September 2018

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa okukozesa mu kaweefube w’okulwanyisa obulwadde bwa nnalubiri.

Nyimba 703x422

Mayiga ng’akwasibwa lipooti y’embalirira y’emisinde gya Kabaka.

Bino Mayiga yabyogeredde Bulange- Mmengo eggulo bwe yabadde ayanjulirwa alipoota ekwata ku bikozesebwa mu kukebera obulwadde bwa nnalubiri ebibalirirwamu obukadde 150, Kabaka bwe yawa Gavumenti eya wakati omwaka oguwedde engeri gye byakozesebwamu.

“Abantu beekokkola obulyake obuli mu gavumenti, ndowooza mwe musaana kutendereza kuba ebikozesebwa byajja okujjanjaba abalwadde, bikozeseddwa n’emiwendo ne gituweebwa n’abajulizi weebali. Njagala okwebaza baminisita abali mu minisitule y’ebyobulamu nammwe abakugu abateeka ebintu bino mu nkola olw’omulimu guno,” Mayiga bwe yeebazizza.

Obwakabaka bwawaayo ebikozesebwa 60,000 ebyeyambisibwa mu kukebera ate ebirala 10,000 nga byeyambisibwa mu kuwa bujjanjabi era bwe yabadde ayanjula alipoota eno, Dr. Charles Kiyaga nga y’avunaanyizibwa ku kaweefube w’okulwanyisa obulwadde buno yategeezezza nti enkambi 37 ze zaakubibwa okwetooloola eggwanga.

Kabaka yasiima ekitundu ku nsimbi eziva mu mazaalibwa ge, kiweebweyo okuyamba abatawaanyizibwa obulwadde bwa nnalubiri nga kino kyakumala emyaka esatu 2017-2019

Emisinde gino givujjirirwa Airtel, Vision Group, Post Bank n’endala nga bonna baakiikkiriddwa ku mukolo guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera