TOP
  • Home
  • Buganda
  • Dan Muliika alumbye Gav't ku bisale by'e Mulago

Dan Muliika alumbye Gav't ku bisale by'e Mulago

By Paddy Bukenya

Added 7th October 2018

EYALIKO Katikkiro wa Buganda, Dan Muliika alumbye gavumenti okufuula eddwaaliro ly’e Mulago ery’okusasulira obuwanana nagamba nti kino kizze lw’ababakulembeze abatalina mwoyo gwa ggwanga.

Waggulu1 703x422

Muliika (ku kkono) ng’ayanirizibwa ku ddwaaliro ly’e Mpigi.

Muliika bino yabyogeredde ku mukolo gw’okutongoza bulungibwansi mu Mpigi ogwabadde ku kisaawe kya poliisi.

Yakubirizza abazadde okuyigiriza abaana baabwe bulungibwansi kibayambeko okulumirirwa eggwanga lyabwe nga bagaba omusaayi, okulongoosa amalwaliro, okugogola enguudo zaabwe n’ebirala nga tebalinze gavumenti.

Muliika yagugumbudde ne poliisi ya Uganda okumenya amateeka ng’ate y’erina okugateeka mu nkola nagamba nti bino byonna bivudde ku bantu butayagala ggwanga lyabwe.

Yatongozza okusimba emiti mu kibuga Mpigi okwetoloola enguudo zonna n’asimba omuti ku ddwaaliro.

Omukolo guno gwetabiddwaako abakulembeze b’ekibuga Mpigi n’abaami ba Kabaka ab’essaza lye Mawokota.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...