TOP
  • Home
  • Buganda
  • Lwaki Buganda ekuza leero olunaku lwa Bulungibwansi

Lwaki Buganda ekuza leero olunaku lwa Bulungibwansi

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2018

SSAABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, Abaganda n’abatali Baganda olwaleero nga October 8, 2018 bali ku Ggombolola ya Ssaabaddu e Ntenjeru mu Kyaggwe okukuza olunaku Buganda lwe yeefuga wabula kati tuluyita olwa BULUNGIBWANSI.

Mknkaba1 703x422

Kabaka Mutebi ng'alambula Kyaggwe

Olunaku luno tuluyita olwa Bulungibwansi ng’ekyagendererwa mu kyo bwe butanyiiza bannaffe abaamawanga amalala n’ebitundu ebirala ebya Uganda abaanyiiganga mu biseera ebiyise nga bawulidde nti Buganda ye yasooka okwefuga nga October 8,1962 n’oluvannyuma nga October 9, 1962 n’egenda mu Uganda eya wamu eyeefuga.

Nga October 8,1962 Duke of Kent eyali omubaka wa Kkwiini wa Bungereza eyajja wano okuwa Uganda obwetwaze, yagenda e Mmengo n’ayogera eri Olukiiko lwa Buganda.

Mu kwogera kwe yalangirira nti Endagaano eya 1900 ne 1955 Bungereza ze yakola ne Buganda okugikuuma, kati zikomye. Era kati Buganda yeetwala yokka, tekyali wansi wa bufuzi bwa Bungereza.

Enkeera nga October 9, 1962 Uganda yafuna obwetwaze wali e Kololo era Duke of Kent yakwasa Dr. Milton Obote eyali Executive Prime Minister wa Uganda ssemateeka y’okwefuga kwa Uganda eya 1962.

Ssekabaka Mutesa II yayimirira ku mukono ogwa ddyo ogwa Milton Obote, ku mukolo ogwo.

Mu wiiki eya Bulungibwansi wabeerawo ebikolebwa bingi mu bitundu ebitali bimu ebya Buganda.

Kabaka alambula ebifo bingi ebitali bimu ng’akubiriza abantu okukola ennyo, n’alaba ebikoleddwa era akubiriza abantu okusomesa abaana, n’abantu okwekuuma n’okwerabirira obulungi.

Buli kifo emikolo emikulu we gibeera wateekebwawo weema abantu we bajjanjabibwa n’okufuna eddagala. Wabeerawo emisomo egikwata ku by’amateeka.

Abaganda kati basanyufu nnyo era bakola nnyo okukulaakulanya Buganda mu bintu ebitali bimu era basanyuka nnyo bwe bawulira nti Kabaka ajja kulabika abeeko ekitundu ky’alambula.

Bazimba ebiyitirirwa ku luguudo lw’ayitako okugenda mu kifo awabeera emikolo emikulu egya Bulungibwansi. Kabaka buli lwalabika eri abantu abeera musanyufu nnyo kubanga kati buli w’atuuka mu Buganda alaba okugenda mu maaso n’enkulaakulana.

Alaba amasomero amalungi ennyo agazimbiddwa, amalwaliro ag’omulembe, ebibuga ebizimbiddwa, ebifo ebirungi abantu we bakolera ebyobusuubuzi ne wooteeri ez’omulembe ezizimbiddwa.

EBYAFAAYO BYA SSAABADDU NTENJERU

 Eggombolola ya Ssaabaddu e Ntenjeru yatandikibwawo mu mwaka 1900 (okusinziira ku byafaayo bajjajjange bye bampa nga nkyasoma mu Mpumu Primary School).

 Yatandikibwa omusajja eyali omulwanyi wa Kabaka Eri Njiri Nanfumbambi Owenseenene. Eri Njiri Nanfumbambi ye yazaala Latima Mpagi eyali omuwanika wa Buganda mu biseera Ssekabaka Muteesa II bwe yali mu buwaηηanguse ate nga Katikkiro wa Buganda mu biseero ebyo yali Paul Kavuma, Omulamuzi nga ye Matayo Mugwanya.

 Eggombolola eno etandikira ku mugga Kasaala oguli ku luguudo oluva e Mukono okugenda e Katosi n’okugenda e Nkokonjeru. Ekoma ku nnyanja awali omwalo gwa Kibanga n’ekoma ne ku mwalo e Katosi. Ku ludda luno olw’ebugwanjuba eggombolola eno etuuka ku mwalo e Bule ku nnyanja Nalubaale era bw’obeera e Bule olengera omwalo Gaba e Kampala.

 Eggombolola eno erimu omugga Zirimiti ogutandikira ku kyalo Ntanzi era Abaganda bagamba nti omugga ogwo guva mu lusozi Mpumu. Olusozi Mpumu olwo Abaganda abedda baagambanga nti luliko oluzzi nga y’endabirwamu ya Buganda eraba mu Ggulu eri Katonda. Omugga Zirimiti Abaganda baguyita Zirimiti bba w’emigga wano mu Buganda.

 Eggombolola eriko omwalo omukulu Katosi eva ebyennyanja ebiriisa Kampala n’ebitundu ebirala. Ku mwalo ogwo Abakoome n’Abalwaje n’abava e Lulere we bagobera ku lukalu.

 Omukungu Eri Njiri Nanfumbambi Kabaka yamuwa sikweya mayiro 8 nga zikwata ekyalo kyonna Mpumu, Kiganda, Kisoga, Ntanzi n’okutuuka e Ntenjeru. Ku ludda olulala ettaka eryo lituuka e Naggunga awali essamba y’amajaani ennene ennyo eyateekebwawo omuzungu eyayitibwanga Buchanan era oluvannyuma Abaganda ekyalo kyonna baakituuma ‘Buchanana’ era nga waliwo n’ekkolero ly’amajaani eddene.

 Eggombolola eno erimu essamba y’amajaani ennene e Kiwafu ku luguudo olugenda e Bule era ng’essamba eyo yateekebwawo omuzungu eyayitibwanga Gordon nga yagiteekawo mu 1945 ng’olutalo Ssematalo owookubiri luwedde.

 Eggombolola eno erimu ekyalo ekiyitibwa Kkoja nga ku kyalo kuno kwe kwabeeranga kojja wa Kabaka wa Buganda era kwabeerangako n’omukungu wa Kabaka omulala eyayitibwanga Ssaabaganzi.

 Eggombolola eno erimu essamba y’ekibala ‘Cocoa’ (kkooko) ku kyalo Kituuza era wano kkooko we yasooka okulimibwa mu Uganda.

 Era erimu essamba y’emmwaanyi ennene ku kyalo Kipayo, bino byonna nga biri ku ttaka lya Kabaka mu muluka gwe Saayi-Kitenda era omwami ow’omuluka. Eggombolola eyo mulimu erimu ku masomero agasinga obukulu mu Buganda erya Mpumu Primary School omwasomera Omutaka w’e Kyaggwe Kavuma-Kaggwa azaalibwa mu Kiganda mwe yasomera okuva mu mwaka 1948 okutuuka mu 1952.

Essomero lino lyazimbibwa omukungu Eri Njiri bwe yawaayo ettaka lye aba Church Missionary Society (kati Church of Uganda) ne NAC (Native Anglican Church) bwe baali nga bazimba amasomero mu myaka egyo.

Nzijukira ng’abaana abamu baavuganga bugaali okuva e Kiyanja, Mugomba, Bunyama, Bugoye, Katosi, Kalengera, Bunakijja, Kiyoola (ku luguudo olugenda e Nkokonjeru) ne bajja okusoma e Mpumu.

Ssaabasajja okusiima okubeera Ggombolola eno kikulu nnyo wano mu Kyaggwe. Omuwandiisi ye Kavuma Kaggwa Omutaka w’e Kyaggwe Essimu: 0772-584423

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...