TOP

Kabaka munyiivu olw’ebiri mu ggwanga

By Dickson Kulumba

Added 10th October 2018

KABAKA Mutebi II mwennyamivu okutulugunyizibwa kw’abantu ssaako okunyigirizibwa mu bulamu obwabulijjo n’akunga abavubuka okwenyigira mu bukulembeze naddala obw’ebika byabwe.

Amakula 703x422

Katikkiro Mayiga ng’ayanjulira Kabaka agamu ku makula agaamuweereddwa ab’a Kyaggwe.

“Ensangi zino tufuna amawulire okuva mu bantu baffe ku mbeera nga bw’eyimiridde mu bulamu bwabwe obwa bulijjo naye nga beeraliikirivu olw’ebiriwo n’ebigenda mu maaso mu ggwanga nga muno mwe muli n’okutulugunyizibwa. Ensonga eno tugitegedde era tugitunuulira,” Kabaka bwe yayogedde ku mbeera eri mu ggwanga.

Bino yabyogeredde ku mbuga y’eggombolola Ssaabaddu Nanfumbambi Ntenjeru e Mukono mu ssaza ly’e Kyaggwe ku Mmande, Buganda bwe yabadde ekuza olunaku lwa bulungibwansi n’olwa Gavumenti ez’ebitundu mu ggwanga ng’emikolo gino gyategekeddwa wansi w’omulamwa ogugamba nti “Abavubuka basaale mu kukulaakulanya Buganda.”

Wiiki ewedde Kabaka yasisinkana Abataka, abakulu b’ebika mu Buganda ne bamutegeeza nga bwe bali abeeraliikirivu olw’embeera y’ebyobufuzi n’ebyenfuna eri mu ggwanga.

Si bebokka wabula ne Bannaddiini n’abantu abalala abazze mu Lubiri nga bategeeza Omutanda ku mbeera eno. Kabaka yawadde essaza ly’e Kyaggwe ensimbi obukadde musanvu n’ekitundu (7.5m) olw’okunywa mu ganne waalyo akeendo mu mwaka, ng’eno y’ensonga lwaki yasiimye emikolo gino ne gikwatirwa eno.

Ab’e Busiro abaakwata eky’okubiri nabo baaweereddwa 2,500,000/-, Egombolola Nanfumbambi Ntenjeru ye yasinze amaggombolola gonna nga yaweereddwa1,000,000/-, Mutuba III Makindye mu Kyadondo eyaddako yafunye 500,000/-.

Olwo omulimi omuvubuka eyasinze okwerwanako Ronald Sseruyange, okuva e Bugerere nga yafuna obubonero 65 yaweereddwa ensimbi 1,500,000/- ssaako n’engule eyitibwa enkumbi ya Kabaka.

Kabaka yawadde abavubuka amagezi bwe yagambye nti: Mu mwe mulimu abavubuka abalina ebitone ebya buli ngeri era mwe abakulembeze ab’enkya.

Awo nno mu maka ne mu massomero, omulimu ogwandisinze obukulu kwe kuzuula ebitone by’abaana era n’okubikulaakulanya.

Olwo abavubuka basobole okukola ebyo bye balinamu ebitone era abaana nabo oluusi baalaga obubonero obw’ebitone nga bakyali bato ddala naye ng’emirundi mingi tetubayamba okukulaakulanya ebitone ebyo.

Emirundi mingi tetuwa mukisa baana baffe okukola ebyo bye balinamu obusobozi era bye baagala era ffe ababasalirawo eky’okukola ekintu ekitali kituufu,”

Yayongedde n’ategeeza nti “ Tukubira abavubuka omulanga okubeera abanyiikivu mu buli kye bakola kubanga tukimanyi bulungi nti mwe mujja okuddukanya ensi yaffe eno. Okuba ab’omugaso mbakubirizza okwegatta olwo lwe munaasobola okukola emirimu egyamaanyi mugatte ensimbi zammwe mulyoke musobole okwewola okukuza emirimu gyammwe,” Kabaka bwe yabuuliridde abavubuka.

Oluvannyuma Kabaka yatongozza ekitabo Buganda eggumidde ekirooto kya Kabaka Kintu nga kino kirimu amasaza 18, amagombolola 174, emiruka 1199 n’ebyalo 8505 n’ebirala ebikwata ku Buganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo