TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka awummuza minisita we Ggaganga abuulirizibweko ku nsonga z'ettaka

Kabaka awummuza minisita we Ggaganga abuulirizibweko ku nsonga z'ettaka

By Dickson Kulumba

Added 11th October 2018

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’awummuza Minisita omubeezi ow’ebyobuwangwa, Hajji Yusuf Wamala Ggaganga.

Teeba 703x422

Hajji Ggaganga

Ensonda zaategeezezza nti, minisita ono kyasaliddwaawo abuulirizibweko ku nsonga ezeekuusa ku by’ettaka noolwekyo mu kiseera ky’anaamala ng’abuulirizibwako, Kabaka kwe kusiima addeko ebbali ensonga ze zimale okutunulwamu.

Omukulu ono amawulire g’okumuwummuza gaamuweebwa mu August w’omwaka guno era okuva olwo tali ku mulimu era okubuuliriza kugenda mu maaso mu kiseera kino.

Ettaka erigambibwa okuleetera Hajji Ggaganga obuzibu kuliko erya Mujaguzo e Kabowa, ery’embuga y’eggombolola y’e Ssisa mu Busiro, ery’e Ggolomolo eribaddeko enkaayana ne Minisita omubeezi ow’amazzi mu gavumenti eya wakati, Ronald Kibuule n’abatuuze b’ekitundu ekyo.

Ku nsonga z’e Ggolomolo, kigambibwa yawandiikira omwami Kateregga ebbaluwa emuwa olukusa ku ttaka lino naye lye yagenda mu maaso n’akolagana ne Kibuule namuguzaako yiika 80.

Ebyapa ku ttaka lino Kibuule byeyali afunye oluvanyuma Buganda Land Board yabisazaamu.

Nga June 15, 2018, Abataka abakulu b’ebika mu Buganda, baalambula embuga ya Mujaguzo e Kabowa ne bafuna okwemulugunya okuva mu bakulira ekifo kino abaakulemberwamu Kawuula Frank Magala ng’embuga bwe yeeyongedde okutundibwa naye nga bagamba nti ebiragiro biva Mmengo.

Abataka baateesa okudda mu kifo kino ne Katikkiro Charles Peter Mayiga bamulage embeera mwekiri era basalire wamu amagezi kyokka ensisinkano eno teyabaayo olw’ensonga ezitaategeerekeka.

Omu ku bataka ataayagadde kwatuukirizibwa mannya yatutegeezezza nti, Kabaka yeetaaga okuteekawo akakiiko okunoonyereza ku ttaka lyonna n’okukuba ttooci mu bakungu ku ngeri gye bafunamu ettaka nga beesomye buli weriri okulitunda.

“Ettaka lyaffe ery’ennono lyonna abavubuka abo aba Buganda Land Board baliyingiridde. Abalikuuma babalaba nga balabe.

Bakolagana ne Baminisita okutunda ettaka lino mu bukyamu,” Omutaka omu bwe yategeezezza.

Ye Hajji Ggaganga bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yategeezezza nti, ensonga zino ziri wakati we ne mukama we, Ssaabasajja Kabaka eyamuwa obuvunaanyizibwa bw’okuweereza nga Minisita noolwekyo tasobola kuzoogerako mu bulambulukufu mu mawulire kyokka n’ayongera n’alambika nti emirimu gya Kabaka azze agikola okuyitira mu bajjajjaabe ne gye buli eno akyagikola.

Mu ngeri y’emu, Omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti bagenda kufulumya ekiwandiiko ekitongole ku nsonga zino batangaaze eggwanga ku kiki ekigenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras22 220x290

Bakitunzi ba Rashford bamutaddeko...

Rashord, 21, yava mu akademi ya ManU okwegatta ku ManU kyokka waliwo ebigambibwa nti Barcelona emuperereza.

Barnabasnawangwe703422 220x290

Makerere University esabye Gav't...

YUNIVASITE y’e Makerere esabye gavumenti egyongere obuwumbi 47 ziyambe mu kukola ku by’okusasula emisaala gy’abakozi...

29243df2f7bc3e5c325b36c37a17a53dc8cb3ab9 220x290

Eyali Pulezidenti yeekubye essasi...

EYALI Pulezidenti wa Peru, Alan García 69, yeekubye essasi ne yetta poliisi bw’ebadde egenda okumukwata ng’emuvunaana...

Pros 220x290

Gavt. ereeta etteeka ku mobile...

GAVANA wa Bbanka Enkulu mu Uganda, Emanuel Tumusiime Mutebile agambye nti, Gavumenti egenda kuleeta etteeka ku...

Cardinal 220x290

Kalidinaali Wamala ayogedde ku...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala ayogedde ku mbeera y’obulamu bwe n’ategeeza nti, talina kimuluma kyonna okuggyako obukadde....