TOP
  • Home
  • Buganda
  • Mmengo esabye Gav't okubaga etteeka eppya erirung'amya entambula y'oku mazzi

Mmengo esabye Gav't okubaga etteeka eppya erirung'amya entambula y'oku mazzi

By Dickson Kulumba

Added 3rd December 2018

MMENGO esabye gavumenti eyawakati okukola ennongoosereza mu tteeka erifuga entambula ku mazzi nga kino kyakuwonya Bannayuganda okutokomokeranga ku nnyanja buli kadde.

Whatsappimage20181203at120259 703x422

Kabaka n'abeebitiibwa nga batudde mu lukiiko e Mmengo

Okusaba kuno kwakoleddwa mu Lutuula olw’okubiri olw’Olukiiko lwa Buganda olwa 26 olwatudde e Bulange- Mmengo olunaku lw’eggulo ku Mmande era ne lusaasira famire zonna ez’abantu 32 abaafiira mu lyato saako n’abo abaasimattuka akabenje kano akagwaawo nga November 24,2018.

“ Gavumenti eteekewo etteeka erirambika okusaabalira ku mazzi. Lino lyakuyamba mu ngeri mukaaga;- okulambika enkola y’amaato, abagoba b’amaato ng’oli avuga abantu abasukka 10, alina okubeera n’ebiwandiiko , okulaga ebiragiro omusaabaze by'alina okugoberera ate nga bigendera ku buzito bwe, okussaawo empuliziganya erambika abagoba b’amaato abavuga abantu abasukka 10 nga bwekikolebwa ku nnyonyi naye weesanga ng’oli akwata bukwasi lyato ng’asindika ku nnyanja, wateekwa okubeerawo okuwa amaato amakubo mwegatambulira, okulambika embeera y’emyalo,” Katikkiro Mayiga bwe yawadde amagezi.

Mayiga yayogedde ne ku mulimu gw’okuzzaawo enju Muzibu Azaalampanga mu Masiro e Kasubi nga bwegutambula obulungi ng’akasolya kanaatera okumalirizibwa okuwundibwa era okusereka kusuubirwa okutandika ku ntandikwa y’omwaka ogujja.

Ku nsonga z’ettaka, Mayiga yategeezezza ng’Obwakabaka bwe busaasira abantu abagobaganyizibwa ku ttaka mu bitundu eby’enjawulo mu Buganda okuli ab’e Lusanja n'agamba nti gavumenti esaanye okuleka amateeka okulamula ensonga z’ettaka.

“ Twagala abatudde ku ttaka ly’Obwakabaka balituuleko ntende era nkubiriza abantu okweyuna enkola ya KYAPA MU NGALO kubanga nnali mbagamba wano nti ow’ekyapa tajoogebwa n’olwekyo mweyunire Buganda Land Board.

Nabagamba ensonga mukaaga ezirina okukolwako okugonjoola endooliito z’ettaka ng’emu ku zino kwe kukaddiwa kw’ettaka. N’olwekyo wano  mu Buganda  tulina okulunda ebisolo tufune ebigimusa. Kino kyakutuyamba ku nsonga y'okukaddiwa kw'ettaka,” Mayiga bweyayogedde ku ttaka.

Ku ky’okutulugunya abantu mu ggwanga, Pulezidenti Museveni yasabiddwa okutwala abakuumaddembe abatulugunya bannansi wabeerewo obwenkanya saako okusaba gavumenti okulowooza ku ky’okutereeza ku mbeera abakuumaddembe bano mwe bakolera.

Olukiiko luno olwakubiriziddwa omumyuka w’omukubiriza waalwo, Hajj Ahmed Lwasa, lwebazizza omukiise waalwo era munnamateeka wa Kabaka, Christopher Bwanika olw’okukulemberamu banne okuwangula emisango egiwabirwa Kabaka ku ttaka.

Lwasabye omukulu w’ekika ky’ekkobe Omutaka Namwama Augustine Mutumba okutuuza muzzukulu waabwe Male Mabirizi eyatwala Kabaka mu kkooti ku nsonga zino ez’ettaka.

Katikkiro Mayiga yategeezezza abakiise ku kukyala kwe mu ssaza ly’e Kooki n'agamba nti kwagotaanyizibwa abantu abali mu kitundu ekyo nga tebaagala nkulaakulana.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...