TOP
  • Home
  • Buganda
  • Omutaka w'ekika ky'Engo ayogedde ekyamutwala ku lyato

Omutaka w'ekika ky'Engo ayogedde ekyamutwala ku lyato

By Dickson Kulumba

Added 10th December 2018

OMUTAKA Muteesasira ayogedde ekyamutwala ku lyato era neyebaza mukazi we olw’okubeera omukakkamu ku mbeera eriwo.

Fu4650979 703x422

Omutaka w'ekika ky'Engo, Muteesaasira

Yabadde ku mukolo ogw’okulamaga kw’ekika kye okwabadde ku lusozi Munywa e Bukesa Buteesasira ku Lwomukaaga December 8,2018 naatwala omukisa guno okunyonyola bazzukkulu be ebyali ku lyato.

Muteesasira Keeya Namuyimba y’omu ku bantu abasimatuka eryato eryatirimbula abantu 32 nga November 24,2018 era emboozi ye yagiyumiza bwaati;-

Nebaza mukama olw’ekirabo ky’obulamu kyatuwadde okusobola olunaku olwaleero nti tuli wano ng’abazirango ng’aboluganda abenda emu. Nzirako okwebaza mwe abazirango. Nebaza Katonda nti yansomosa embeera gyenalimu ne Jjajja Kiwedde ate kati mukwano gwange wanjawulo.

Erinnya erya Kawonaawo twaliganye kubanga litujjukiza bingi naye nga mu butuufu tuli ba kawonawo. Tukyebaliza Katonda eyatuwa omukisa ogw’okubiri okuddamu okutuula namwe, okunyumya namwe, okulya nammwe nga tubakulembera nga Abazirango.

Ng’omwana wa Kintu nga Mukasa ku nnyanja kwaali, nze ne Kaddukirizi ennyanja yatuwanda. Tusabira bannaffe mukama Katonda beyayita mu ngeri eyo, abawe ekiwummulo eky’emirembe ate twagala okuyimirira awamu ne famire z’abantu abafiira mu njega eno kuba manyi bali mu kunyolwa.

Mukama katonda yamutegekera olunaku lw'anaamutwalira. Naye nneebaza Mmmange kubanga wa njawulo nnyo, yampa obulamu ate Katonda ansaasidde nti akyali mulamu, mmanyi buli lunaku ansabira(alaga nnyina..).

Omuntu gw'obeera naye mu nnyumba singa yali yakuvaamu mu mbeera gyetuyitamu ennaku zino naakuvaamu natandika okukusimasima ate osanga nandibadde ndi mu mbeera mbi.

Naye Jjajja mukyala ensonga yagikwata ng’omukyala era n’okuba nti nsobodde okubeera wano, abadde musaale.

Omanyi oluusi ndogottana kubanga gwendi naye era yawulira okulogottana kwange kubanga embeera gyetwayitamu si nnungi naye byonna abigumidde era mwebaza olw’ensonga eyo.

Abantu abamu bayinza okwebuuza Jjajja yali anoonya ki ku lyato, akutte ne Kadduukirizi ( Eriab Nanjibwa-Omutaka w’Omutuba gwa Kiwedde e Mpongo- Gomba) amututte ku lyato.

Naye bannange nange ndi muntu. Nnina mukwano gwange omu, Mutaka mukulu wa Kasolya.

Bweyawulira amawulire gano yankubira essimu nambuuza nti omutwe gwo gukola bulungi? 

Nemugamba nti nkubulira amazima omutwe gwange gwegukyasinze okukola obulungi naye entuuko bweeba etuuse ebintu bingi oyinza obutabiraba.

Bagamba nti akanaafa…mbabulira amazima waliwo Omulangira Ssimbwa (Arnold) yatulabula oba emirundi emeka..Nti tetulinya lyato lino, eryato lino tetuligendako. Mukwano gwange Freeman Kiyimba ne Mukwano gwange Omulangira David Kintu Wasajja yangamba nti Jjajja olw’erinnya lya Kintu nze neddira Ngo wadde ndi Mulangira.

Tulina omukwano gwaffe ogw’enjawulo ng’oggyeko nti Mulangira ate nze ndi Mutaka. Twali tugenda okuggulawo biici ya Jjajjawe embeera eno netuukawo, bannaffe nebatufaako.

Nalowooza nti nnina okukyusa obulamu bwange nga bwembadde mbutambuza, naye mbadde sibutambuza bubi nnyo. Naye embeera bweyatuukawo, Mw. Ssenabulya mukwano gwange ng’omuntu, tulina wetutuula buli lwaggulo  agenda okulaba nga takyandaba nagamba nti Jjajja ogenda kufa bwogenda mu maaso n’embeera eyo gyokolamu ebintu otandike n’okutukyawa nga ffe abaali bakututte mu mazzi!

Kino kyatuwadde eky’okuyiga,twasanyuse nnyo olw’omukwano gwemwatulaze. Oluusi tubadde tetumanyi abantu batwagala okutuuka ku kino.

Abantu mwatwagadde Essimu yange bweyaddako natuuka okulowooza nti lwaki siva ku mpewo kubanga buli sekendi evuga.

Namanya nti bwembeera ntambula, sitambula nzekka wabula nnina abantu abalala abandi mu mugongo gwange.

Awo wenebaliza Katonda nti yampa omukisa abantu bano nembamanya era nemanya nti sirina kuddamu kubayiwa ng’abasingira ddala be mwe Abazirango.

Nali sibayiye wabula enteekateeka za Katonda bwezityo bwezaali nti nze n’Omuzirango Kaddukirizi nti tuliggwa mu mazzi netuwona. Ezo zaali nteekateeka za Katonda era tumwebaza nnyo.

Mu mbeera eno nebaza Namwanje (Owa Suredeal) nti alina ebbanga ettono wafuukidde ensonga mu kika kyaffe eky’engo naddala ku nsonga eno ey’okulamaga wadde tubadde tulina wetuli naye akoze omulimu gwa ttendo.

OKULAMAGA KWASOOKA NA KITAMBIRO KYA MMISA:

Okulamaga kw’abazzukkulu ba Muteesasira okw’omulundi guno kwaali ku lusozi Munywa e Bukesa eno era kwakulemberwamu Fr. Achilles Kalyango ow’e Mityana ng’ono yebaza Katonda olw’okutaasa Omutaka Muteesasira ne banne ate naasabira n’abafa ekiwummulo eky’emirembe.

Omutaka Muteesasira  nga naye Mukatulikiti, yasabiddwa abafaaza abalala okwadde Fr. John Baptist Kintu ng’ono yavunanyizibwa ku by’entendereza mu Busumba bw’e Masaka wamu ne Fr. Remegius Ssemujju ow’e Kanyanya mu Kyadondo.

Oluvanyuma abazzukkulu batonedde Omutaka Muteesasira ente bbiri okumukulisa eryato.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...