TOP
  • Home
  • Buganda
  • Ekisaakaate kidde mu masomero - Nnaabagereka

Ekisaakaate kidde mu masomero - Nnaabagereka

By Dickson Kulumba

Added 16th January 2019

NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda agambye nti, kikulu enteekateeka y’Ekisaakaate okuteekebwa mu masomero abaana bonna abatalina mukisa kugenda mu Kisaakaate ekibeerawo mu January buli mwaka.

Saba 703x422

Nnaabagereka ng'atuuse ku mukolo gw'Ekisaakaate ku Mmande .

Bino yabyogedde bwe yabadde akyadde mu Kisaakaate eky’omulundi ogwa 13 nga kitegekeddwa ku ssomero lya St. Joseph of Nazareth e Kavule - Katende mu ssaza ly’e Mawokota ku Mmande.

“Kikulu Ekisaakaate okubunyisibwa mu masomero kubanga kino ekibeerawo mu January buli mwaka, tubeera nabo ekiseera kitono. Kino kyakuyamba okugunjulira eggwanga abatuuze abeegombesa era ab'obuvunaanyizibwa", Nnaabagereka bwe yategeezezza.

Omwaka oguwedde enkola y’Ekisaakaate yatongozebwa mu masomero g’ekibuga Kampala nga bwe kinaamala okunnyikira kirowoozebwa kigenda kutwalibwa ne mu masomero ag’ebitundu ebirala.

Nnaabagereka yayongedde n'asaba abazadde okulondoola abaana baabwe okulaba nga bateeka mu nkola ebyo ebibasomeseddwa nga yalagiddwa ebintu eby'enjawulo abaana bye bakola okuli okubumba, okuluka, okweyonja n’ebirala.

Oluvannyuma Nnaabagereka yagguddewo ekizimbe ekipya ku ssomero lino abayizi mwe bagenda okuliiranga. Essomero lino likulirwa Omulangira Paul Kyabaggu.

Abayizi baayimbidde Nnaabagereka n'okutontoma ebyo bye bazze basomesebwa okuva nga January 5, 2019.

Abalala battunse mu mizannyo okuli omweso n'emirala. “Omweso gwe gumu ku mizannyo emizaaliranwa egireeteddwa mu Kisaakaate.

Omuzannyo guno gulina okwagazisa abaana okubala, obutetenkanya n’ebirala kyokka n’emizannyo emirala weegiri,” Adrian Mukiibi akulira emirimu mu Nnaabagereka Development Foundation bwe yategeezezza. Ekisaakaate kino kikomekkerezebwa nga January 19, 2019.

Kyetabiddwaamu abaana abasukka mu 400 nga kitambulidde ku mulamwa 'Obuntubulamu mu bikolwa byange'.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...