TOP

Nnaabagereka asiimiddwa aba lotale

By Dickson Kulumba

Added 11th March 2019

NNABAGEREKA Sylivia Nagginda asiimiddwa abakyala bannalotale olw’obukulembeze bwalaze mu kutumbula okuyimusibwa kw’omwana omuwala n’abakyala mu ggwanga okutwalira awamu.

Nabagerekalotale4 703x422

NNABAGEREKA Sylivia Nagginda asiimiddwa abakyala bannalotale olw’obukulembeze bwalaze mu kutumbula okuyimusibwa kw’omwana omuwala n’abakyala mu ggwanga okutwalira awamu.

Bino byabadde ku Serena Hotel ku Lwomukaaga March 9,2019 ku kijjulo ky’abakyala bannalotale ng’ekirabo kino kyamukwasiddwa Gavana wa lotale atwala Uganda ne Tanzania, Sharmila Bhatt.

“Ng’abakyala twetaaga obukulembeze obunatuyamba okutakula ku nsonga ezisomooza enkumu zetusanga okuli obuli bw’enguzi n’ebirala nga byetaaga abakulembeze abewaddeyo bwekityo mbasaba mwe bannalotale okutendeka abaana abawala n’okubawa obusobozi okwanganga okusomoozebwa kwebasanga mu bitundu gyebabeera,” Nnabagereka bweyasabye abakyala abaliko webatuuse okuyamba ku bannabwe.

Omukolo guno gwategekeddwa wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘Balancing for better’ (okwenkanyankanya olw’obulungi bwa buli muntu) era Omukyala Carol Muyoka-Munnamateeka eyabadde omwogezi ow’enjawulo ng’ono nzaalwa y’e Kenya yasabye abakyala okukuza abaana abalenzi mu ngeri y’emu ng’abaana abawala kuba mu kino bakukula nga tebayisa maaso mu baana bawala, okulwanirira n’okutumbula ensonga z’abakyala zakwanguwa.

Pulezidenti wa lotale ya Kampla- Naalya, Denis Jjuuko yategezezza nti emyaka 30 abakyala gyebamaze nga bagasse ku lotale gisitudde nnyo ekitongole kino kubanga bamalirivu era nga kibeera kikulu okubasiima mu kiseera ng’ensi ejjaguza olunaku lw’abakyala.

Abakyala abasukkulumye ku bannabwe mu bintu eby’enjawulo basiimiddwa olw’obuwereeza bwaabwe n’ebirabo nga Ruth Nvumetta Kavuma omutandisi wa Forum for African Women Educationalist (FAWE) yasiimiddwa mu kkoowe ly’obukulembeze, Gerry Opoka owa Soul Fitness Ltd yeyasinze mu kkoowe ly’obuyiiya ate Vivian Kityo owa Wakisa ministries n’asinga mu kkoowe ly’obuwereeza eri abantu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yetabye ku kijjulo kino nategeza nti enkungana bweziti nnungi mu kutendeka n’okulambika abakyala era kyakubeera kyangu okubitunulamu okulonda abawereeza abakyala. Oluvanyuma yakwasizza Muyoka ekirabo ekyamuwereddwa.

Abatumbuzi b’ensonga z’abakyala okuli Victoria Ssekitoleko- omukugu mu by’obulimi,Ritah Opondo ng’ono yakulira ekibiina ky’abakyala-UWONET ne Phyllis Kwesiga ng’ono wa KK Consulting Architects (mukubi wa pulani),mu kukubaganya ebirowoozo basabye kaweefube akolebwe buli mwana muwala atwalibwe mu ssomero ng’eno gyebajja okuyigira eddembe lyaabwe ate n’okwekiririzaamu nti buli kikolebwa ku nsi bakisobola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib2 220x290

Aketalo nga URA etunda mmotoka...

Aketalo nga URA etunda mmotoka ne pikipiki ku nnyonda.

Lab2 220x290

Bumate United FC etanziddwa emitwalo...

Bumate United FC etanziddwa emitwalo 50 mu Big League

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo