TOP

Mmengo ekoze omukago n'aba lotale

By Dickson Kulumba

Added 11th March 2019

OBWAKABAKA bwa Buganda bukoze omukago n’ekitongole kya lotale okukola kaweefube w’okutumbula embeera z’abantu mu byenfuna, okulwanyisa endwadde,okutumbula obuyonjo n’okusimba emiti.

Lotalemukago1 703x422

Katikkiro Charles Peter Mayiga (ow'okubiri okuva ku kkono) nga yetegereza okuwanyisiganya kw'ebiwandiiko wakati w'Omumyuka w'omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda, Hajj Ahmed Lwasa ne Sharmila Bhatt atwala Lotale mu Uganda ne Tanzania mu disitulikiti eyitibwa 9211. Omukolo gwabadde Bulange- Mmengo ku Lwokuna March 7,2019 ng'Obwakabaka bwakoze endagaano mwebugenda okukolaganira ne Lotale okukola emirimu gy'enkulakulana. Okuva ku ddyo ye Ann Nkutu omuyambi wa Bhatt mu Uganda, Keneth Mugisha eyaliko Gavana wa lotale mu Uganda ne Tanzania ate ku ddyo emabega ye David Nsubuga.

Omukolo guno gwabadde Bulange- Mmengo ku Lwokuna March 7,2019 nga Katikkiro Charles Peter Mayiga yasinzidde wano nategeza ng’eggwanga lino bweririna okuteeka essira ku kusimba emiti okutaasa obutonde bwensi obwonooneddwa ekisusse.

“Omuntu eyeralikirira ku butonde bwensi oba omuntu afaayo ku mazzi getunakozesa mu bulamu bwaffe mu buli ngeri yooyo afaayo okusimba emiti, okugirabirira ate n’okugitaasa. Omuntu afaayo ku butonde bwensi n’amazzi yooyo ataasa entobazi, ebibira era yooyo akola kyonna ekisoboka okukugira okukuluguka kw’ettaka oba mukoka kubanga ebyo byonna bikosa obutonde bwensi era bwe bukosebwa n’amazzi negatubula, ako katyabaga akasinga n’obutujju okuba ak’obulabe,” Mayiga bweyagambye.

Katikkiro yagambye nti omukago guno gwakutwalibwa ng’ekikulu kubanga emirimu egikolebwa aba lotale gyefananyiriza ddala neegyo Kabaka gyeyalagira gavumenti ye okukola okutendeka n’okubangula abavubuka, okutumbula eby’obulamu n’ebyenjigiriza, okutondawo emirimu n’ebirala.

Hajj Ahmed Lwasa nga ye Ssentebe w’olukiiko lw’Obwakabaka oluvunanyizibwa ku kutuukiriza omukago guno yatadde omukono ku ndagaano najjulirwa Ssabawolereza Christopher Bwanika ate  ku lwa Rotary International,Sharmila Bhatt nga ye Gavana wa disitulikiti eyitibwa 9211 etwala Uganda ne Tanzania najjulirwa Ann Nkutu ng’ono yamuyambako ku mirimu wano mu Uganda nebateekako omukono.

Hajj Lwasa yategezezza nti Obwakabaka bwatandise dda okuteekawo enkiiko ezigenda okuyambako okuteeka ebimu ku birubirirwa mu nkola okutumbula ebyenfuna y’abantu ng’akakiiko kano kakukulirwa Ying. Martin Kasekende ng’amyukibwa Keneth Mugisha. Ate akakiiko k’okutumbula obulamu mu maka kakukulirwa David Nsubuga, ate Jane Nankabirwa Kabugo wakukulira akakiiko akagenda okukola ku mazzi n’obuyonjo.

Ye Sharmila yebazizza Obwakabaka olw’okuteeka enteekateeka y’ebigenda okukolebwa mu lulimi oluganda bisobole okutegerwa abantu abagenda okukolebwamu omulimu guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Deb2 220x290

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku...

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira