TOP
  • Home
  • Buganda
  • ‘Abeng’onge mubeere bumu mulwanirire ekika’

‘Abeng’onge mubeere bumu mulwanirire ekika’

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2019

OMUKULU w’omutuba gwa Sekirevu e Bulenge Busujju, mu ssiga lya David Kitumba Jjemba Sekirevu asabye abeddira Eng’onge okubeera obumu balwanirire ekika kyabwe ate baleke kwewa bitiibwa bitannabaweebwa.

Taayiza 703x422

Kibuuka Mbobbo (ku kkono) eyalagiddwa ab’ekika ky’Eng’onge. Amuddiridde ye Zitemwa Kasaanyi ow’olunyiriri. Owookubiri ku ddyo ye Jemba.

Bino omutaka Jjemba yabyogedde alaga omukulu w’ekika ky’Engonge omuggya, Peter Kibuuka Mbobbo ava mu mutuba gwa Sekirevu.

Omukolo gwabadde Matugga mu Ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Jjemba agamba nti wadde Ssaabasajja Kabaka amanyi Mathias Kaboggoza bbo nga ab’omutuba gwa Sekirevu tebamumanyi ng’omukulu w’ekika kyabwe, kuba ava mu mutuba gwa Beenenya nga bbo ab’Engonge tebasobola kumukkiriza kubakulira.

Ono era avumiridde abantu mu kika kyabwe abeewahhamya ku bitiibwa nga tebabibawadde nti kireeseewo entalo mu kika.

Wabula Kibuuka Mbobbo alondeddwa ategeezezza nga bw’agenda okutuukiriza obuvunaanyizibwa obumuweereddwa okulaba ng’atwala emirimu gy’ekika mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Deb2 220x290

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku...

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira