TOP
 • Home
 • Buganda
 • Emyaka 64 n'ebintu 64 by'olina okumanya ku Kabaka

Emyaka 64 n'ebintu 64 by'olina okumanya ku Kabaka

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2019

Ku Lwokusatu nga 13 April 1955, mu budde obw’ekiro, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi lwe yazaalibwa mu ddwaaliro e Mulago. Leero ku Lwomukaaga, nga tujaguza amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 64 tukuleetedde ebintu 64 okutuukana n’emyaka gye 64, by’osaanye okumumanyaaako:

Bikako 703x422

Abeekika ky'Embogo nga bakongojja Kabaka ku mikolo gy'Amatikkira.

 1. Mutebi II ye Kabaka wa Buganda owa 36 mu luse lwa Kintu
 2. Okutikkirwa ku Nnamulondo, Obwakabaka bwali bumaze emyaka 27 nga buvuddewo.
 3. Yakulirako e Bugangaizi nga likyali ssaza lya Buganda kati famire mweyakulira yadda Kyankwanzi.
 4. Ateekateeka okufuula ekifo ky’e Bugangaizi gye yakulira eky’obulambuzi.
 5. Awandiisa mukono gwa ddyo naye omupiira agusambisa kkono.
 6. Abaana be babatiriza mu nzikiriza y’Abapolotesitanti.
 7. Yabeerako mu maka Amasiraamu aga Katambala, Hajji Musa Kibirige
 8. Ku mazaalibwa ag’emyaka 64 kwe yasookedde okwogera ng’aggulawo okudduka okutegekebwa olw’amazaalibwa ge. Ku kudduka okulala abaddenga asimbula busimbuzi baddusi nga tayogera.
 9. Ng’akomawo mu Bwakabaka bwe, okuva mu buwahhanguse, yayitira ku nsalo e Busia nga August, 15, 1985.
 10. Munnabyamizannyo naye asinga kuzannya n’okunyumirwa omuzannyo gwa Squash.
 11. Yazannyako n’omuzannyo gwa bakirimaanyi ogwa Rugby.
 12. Yasomerako e Buddo Junior School kyokka teyasulangayo.
 13. Wadde tabeeraangako Pulezidenti nga kitaawe bwe yali naye yasulako mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe.
 14. Ye yali omukuza wa Omukama Oyo owa Toro okutuusa lwe yaweza emyaka 18 egy’obukulu nga April 16, 2010.
 15. Ayagala nnyo embwa ye era yagenda nayo lwe yali alambula ekitundu ky’e Kiboga- Kyankwanzi mu 2017.
 16. Alina abaana bataano abamanyiddwa.
 17. Nga March, 4, 2017 yalondebwa okuba omubaka w’ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekirwanyisa obulwadde bwa mukenenya (UNAIDS) mu Afirika ng’akunga abantu okulwanyisa obulwadde buno.
 18. Baamusimbira omutuba ku kyalo Degeya e Kalagala mu Bulemeezi mu 1958 ng’eyagumusimbira ye Paul Luko.
 19. Ng’akula teyayagalanga nnyo kwawukana ku banne y’ensonga lwaki teyayambalanga ngatto mu P.1 ne P.2 kubanga banne be yasomanga nabo tebaazaambalanga.
 20. Bwe yali akula, omwana ataamuvanga ku lusegere, gwe baamutambuzanga naye ng’ali e Bugangaizi ye Martin Lwasa Kaweesi.
 21. Obutafaanana na Bakabaka balala, yabikka akabugo emirundi ebiri okufuuka Kabaka; mu 1969 e Bungereza ne mu 1971, e Bamunaanika.
 22. Lubuga we bwe baali bamusimbira omutuba ye Evarista Nabbowa Ndibawaaki. Ate gwe baamutikira naye e Naggalabi ye Dr. Agnes Nabaloga.
 23. Abatunda ettaka ate ne bakaaba obwavu bamunyiiza.
 24. Abavubuka ababeera mu bbeetingi nabo bamusunguwaza.
 25. Yabeerako mu Ethiopia okumala ebbanga n’omulangira David Ssimbwa.
 26. Yatambulirako mu nnyonyi ne bagiremeza mu bbanga okumala akaseera nga bagigaanyi okukka nga bagamba nti ku kisaawe gy’ekka batezeeyo bbomu.
 27. Bwe yali aweza emyaka mukaaga yalagira abasibe abaali bakwatiddwa bateebwe era ne kikolebwa.
 28. Embwa gye yasooka okuba nayo baali bagiyita Ssenkungo.
 29. Eky’okuzannyisa kye yasinga okwagala mu buto kyali kya mmundu ng’eno yali ya kiti kye yabagaliranga.
 30. Baamukubako embooko n’ezimba lwa kugenda kikeerezi ku ssomero e Buddo ng’ali mu P.2.
 31. Yanyumirwanga nnyo engero era nga bw’azinyumiza banne ne baseka ng’asanyuka.
 32. Abaana be ayagala basomesebweko ku musomesa eyamusomesa.
 33. Taata afa ennyo ku baana be era Jjunju we yasomera e Buddo ng’agendayo ekiro n’amulambula n’okukubayo essimu buli lunaku.
 34. Ssinga yali ku ssomero ku mulembe guno abaana baalimwogeddeko nga owa ‘rich gang’ anti baamukimiranga mu mmotoka ekika kya Rolls Royce ku ssomero ng’eno ye yali esinza ebbeeyi mu Uganda ebiseera ebyo.
 35. Omwana gwe yatuulanga naye mu kibiina ku mmeeza y’emu ye Lumu.
 36. Yayitanga kitaawe Mugema si taata.
 37. Buli lw’aba n’embaga ey’okusanyuka mu Lubiri e Banda , abaana ba baliraanwa be abaweereza kkeeki, amata, ennyama ne ssoya w’obuwunga.
 38. Agabira abasomesa ba Kyambogo Pulayimale ennyama buli Ssekukkulu.
 39. Agabira abayizi ba Kyambogo Pulayimale abawa eddaala lya kkeeke buli lw’ajaguza amazaalibwa ge ne ku luno balyesunze.
 40. Yalina kkombati eyakolebwa Abakorea gye yayambalanga ng’ali mu nsiko, mu lutalo lwa NRM.

 41. Amakula gonna ge baamuwa ng’ali mu nsiko yagawa bantu be abaali babundabunda olw’olutalo.

 42. Yasulako mu nnyumba ey’essubi enzimbirewo ng’ali mu lutalo lw’ekiyeekera.

 43. Ku myaka ena, yagendanga mu Lubiri n’abuuza ku bataka ne Baminisita era Olukiiko terwatandikanga nga tannajja kubabuuzaako.

 44. Alina ofiisi ku Bulange mw’atuula n’akola emirimu gye.

 45. Abagenyi abatongole abalabira mu Twekobe e Mmengo oluvannyuma lw’okuyoyootebwa n’efuuka TWEKOBE EJJUDDE.

 46. Olukiiko lwe olusooka yalulonda mu 1985 bwe yajja mu lutalo lw’ekiyeekera nga baali baluyita “Ssaabataka Supreme Council”.

 47. Yakolako ku chakamuchaka ng’ono yamukola mu 1985 ng’ali mu nsiko.

 48. Olubiri lwe olwasooka nga yaakakomawo ng’olutalo lwa Museveni luwedde yalukuba Komamboga, gye yasulanga.

 49. Obote bwe yalumba olubiri mu 1966, Omulangira Mutebi baamukweka Kankwale mu Buweekula.

 50. Alina effumu lye lye bayita Kanuuna nga lino lye lyafumita Bemba era lizze lisikirwa buli Kabaka atuula ku Nnamulondo.

 51. Kabaka okulonda Mulwanyamuli Ssemwogerere ku Bwakatikkiro yasinziira Bungereza n’amulangirira era n’alagira Besweri Mulondo okutegeeza Olukiiko.

 52. Yasaba Nagginda ave mu Amerika ajje amuweeyo ssaawa bbiri zokka amubuulire ensonga ye kyokka bwe yajja yamwanjula bwanjuzi w’abalangira n’abambejja nti y’agenda

 53. Ekyama ky’okufuna Nnaabagereka yasooka kukitegeeza Besweri Mulondo gwe yakubira essimu n’amugamba ebigambo bisatu nti: ‘Owange, omuntu tumufunye’.

 54. Yasikira Nnamulondo ng’aweza emyaka 14 gyokka.

 55. Yakolako obwakitunzi, yaliko munnamawulire atalina lupapula lwa nkalakkalira.

 56. Ye Cansala wa yunivasite ya Muteesa I Royal eyasooka nga yabufuna nga April 15 2011 okutuusa 2016.

 57. Ekyamuggya ku bwacansala bwa yunivasite ya Muteesa 1 ge mateeka g’ebyenjigiriza mu ggwanga agagamba nti tosobola kubeera nnannyini yunivaiste ate n’obeera cansala waayo.

 58. Ku myaka 19 yafuuka enfuuzi nnyina bwe yazaama mu 1974 ate nga ne kitaawe Ssekabaka Muteesa II yakisa omukono mu November 1969.

 59. Yalaba waliwo ababulankanya amakula agamuweebwa n’aleeta enkola y’okuwandiika amakula agamuweebwa, kimu ku kimu.

 60. Mu Ssemateeka wa Uganda ayitibwa “Corporation Sole” nga kitegeeza asobola okuwaaba n’okuwawaabirwa.

 61. Yaakasiima emirundi esatu okulambula aba Pope Paul Club.

 62. Mu 1987, ng’akyali Ssaabataka yazzaawo emipiira gy’ebika.

 63. Mu 1993, nga tannatikkirwa Naggalabi, yaleegesa ehhoma ku Lubiri lw

 64. Mujaguzo e Kabowa n’akola n’emikolo gyonna egisooka alyoke atikkirwe e Naggalabi.

 65. Mu 2001 Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II ne maama Nnabagereka Sylvia Nagginda baazaala omumbejja Katrina Ssangalyambogo.

 66. Mu 2012, Kabaka yalaga Obuganda omulangira Ssemakookiro.

 67. Mu 1966, Sir. Edward Muteesa II, yakwasa Omulangira Mutebi ekiwandiiko nga bali e Bungereza n’amutegeeza nti addanganyo e Buganda n’afuga abantu be.

 68. Mu 1971, yakomyawo enjole ya kitaawe Ssekabaka Muteesa II okuva e Bungereza gye yakisiza omukono mu 1969.

 69. Mu November wa 2015, Ssaabasajja yasisinkana omutukuvu Paapa Francis ku Lutikko e Lubaga.

 70. Mu 2018, Ssaabasajja yakyaza mukulu munne Asantehene Otumufuo Tutu, Kabaka w’e Ghana bwe yali ajaguza Amatikkira ge nga July 31.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...