TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnaabagereka akaabizza abakungubazi ng'ayogera ku kitaawe

Nnaabagereka akaabizza abakungubazi ng'ayogera ku kitaawe

Added 16th April 2019

NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda akaabizza abakungubazi bw’alombozze omukwano kitaawe gw’abadde amulaga okuviira ddala ng’akyali mu myaka emito.

 Nnabagereka wa Buganda, Slyvia Nagginda ng'awa obubaka ku kitaawe omugenzi Luswata

Nnabagereka wa Buganda, Slyvia Nagginda ng'awa obubaka ku kitaawe omugenzi Luswata

Nnaabagereka yasinzidde mu Lutikko e Namirembe eggulo mu kusaba okwakulembedde okuziika kitaawe John Mulumba Luswata eyafudde obulwadde bw'ensigo n'omutima.

Nnaabagereka mu kusaba kwonna eyabadde alabika ng'amaziga asiba masibe yategeezezza abakungubazi nti yali yasemba okulaba ku maziga ga kitaawe bwe yalinnya ennyonyi omulundi gwe ogwasooka ng'agenda mu Amerika era bwe yali amusiibula (kitaawe) yatulika n'akaaba wabula oluvannyuma n'amwagaliza olugendo olulungi.

"Bwe nnagenze okumulaba ku kitanda nga takyasobola na kwogera yantunuulidde mu mmunye n'akulukusa ezziga n'ange ne nkaaba, era ogwo gwe gwabadde omulundi gwange ogwokubiri okumulaba ng'akaaba," Nnaabagereka bwe yategeezezza olwo abantu amaziga ne gabayunguka ate naye n'alwana nago obutayiika.

Nnaabagereka yategeezezza abakungubazi abajjuzza Lutikko y'e Namirembe nti kitaabwe abadde musajja anyumirwa ennyo okusaaga era nga buli mboozi gy'anyumya ateekamu okusaaga nga kw'atadde okuseka ennyo, ekintu ekibadde kinyumira abaana be.

Mu kusaba kuno, nnamwandu w'omugenzi Luswata, Edith Namirimu Luswata, yategeezezza nti mu bbanga ly'amaze ng'ali ne bba tebayombyeko wadde oba okulwana nga bwe guli ku bufumbo obumu era ng'abadde amukwata ng'ekyatika n'ategeeza nti ebiseera bye byonna agenda kubisubwa nnyo.

Kino kyayongedde amaziga mu bakungubazi ssaako embeera y'ennaku olw'engeri nnamwandu gye yabadde alombojjamu obulamu bw'omugenzi.

Yagambye nti okukuza abaana mu mpisa omugenzi yakitwala ng'ekyomugaso era nga bwe kituuka mu kusoma akola buli ekisoboka okulaba ng'abaweerera era w'afiiridde ng'abaana be bonna bamalirizza emisomo gyabwe.

Okusaba kwakulembeddwaamu Omulabirizi w'e Namirembe Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira eyakuutidde abantu bulijjo okukomya okweraliikirira buli kaseera wabula bafube okwesigama ku Katonda kuba y'afuga obulamu.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yasinzidde mu Lutikko e Namirembe n'akubiriza abazadde okukuza abaana mu mpisa bakomye n'ehhombo egamba nti buli mwana n'omukisa gwe kuba kireese bangi okubonaabona abamu ne babulwa n'ebyokukozesa.

Okusaba kw'e Namirembe kwakulembeddwa okwabadde mu kkanisa ya St. Luke e Nkumba nga kwakulembeddwa omubuulizi Edison Kibalama eyasabye abakkiriza okuteekerateekera ebifo byabwe eby'omuggulu nga bakyali balamu.

Kibalama yagambye nti omuntu bw'afa asigaza mwoyo era kyavudde asaanira okukolelera eggulu ng'akyali mulamu ng'alina kukiragira mu bikolwa bye.

Omukubiriza w'olukiiko lw'abataka, Omutaka Kayiira Gaajuule ku lw'Abataka yeebazizza nnamwandu ne Nnaabagereka olw'okujjanjaba n'okulabirira omugenzi naddala mu kiseera ky'amaze ng'alumizibwa n'asaba abantu okukomya okunenya bannaabwe nga waliwo ebitagenze bulungi wabula basonyiwaganenga.

Ate ye omwogezi w'Obwakaba, Noah Kiyimba, yagambye nti omugenzi alese omukululo era ng'alina bingi ebimujjukirwako naddala eri Obuganda ne yeebaza Katonda olw'ebyo by'amukozesezza.

Omugenzi Luswata yafiiridde ku myaka 81, ng'abadde yinginiya wa masannyalaze omutendeke nga waakuziikibwa leero e Nkumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono