TOP
  • Home
  • Buganda
  • Emyaka 6 egya Katikkiro Charles Peter Mayiga

Emyaka 6 egya Katikkiro Charles Peter Mayiga

By Musasi wa Bukedde

Added 12th May 2019

LEERO giweze emyaka mukaaga bukya Ssaabasajja Kabaka annonda okubeera Katikkiro wa Buganda. Okuweereza Obuganda mulimu mukulu ate gwa kitiibwa.

Mayiga 703x422

Natuula ne bannange Kabaka be yankwasa okutambuza emirimu gye ne tubaga enteekateeka nnamutaayiika, etusobozesezza okubaako ebitonotono bye tutuukako.

Bonna be ntambudde nabo, ate n’abantu ne Buganda, ne Bannayuganda bonna, mbeebaza olw’obuwagizi bwe bampadde mu bbanga lino, nga bwe nnabubasaba mu kwogera kwange okwasooka eri Olukiiko lwa Buganda.

Emyaka we giweredde omukaaga nga nkutte Ddamula nga Ssaabasajja akendeezezza baminisita be, okuva ku 14 okudda ku 9, minisitule ezimu ne zigattibwa era baminisita ne bongerwa obuvunaanyizibwa.

Kino kyakolebwa olw’okwagala okukomya obwannakyewa, nga Nnyinimu atandikira ku baminisita.

Baminisita kati bakola obudde bwonna era waliwo essuubi ddene nti enteekateeka eno egenda kunnyikiza obuweereza, nga balabirira bulungi ebitongole ebigwa mu minisitule zaabwe.

Okuva Omutanda lwe yadda okwaboobwe mu 1986, Beene emirimu kumpi gyonna agiyisizza mu bannakyewa.

Bakoze omulimu gwa ttendo era kumpi buli ekirabwako kyatandikibwa ku musingi gwa bwannakyewa.

Twebaza bonna abawaddeyo obudde bwabwe, amagezi n’ebikola okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda.

Nsuubira nti okuba ne baminisita abakola obudde bwonna, nga baweebwa ensako, kijja kunyweza obuwanguzi obutuukiddwaako mu myaka 25 nga Kabaka Mutebi II ali ku Namulondo, era kimpa essanyu okuba nti Cuucu yasiima nkulemberemu enteekateeka eno.

EBIKOLEDDWA

Mu myaka omukaaga egyakayita tuliko bye tugezezzaako okukola, omuli okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi. Muzibu-Azaala-Mpanga tannaggwa naye omulimu gutambula.

Ekirungi, bbugwe okwetoloola ettaka ly’Amasiro erya yiika 64 twamumala kwossa amayumba g’abazaana n’abasiige; amasannyalaze g’enjuba n’ebirala.

Masengere, eyali egaηηalamye mu bwenyi bwa Bulange okumala emyaka 40, nayo twagimala; twatandika ne BBS Terefayina (nga twanukula omulanga gw’Abaganda abaayaayaaniranga ttivvi).

Waliwo n’amakampuni amalala agaatandikibwa nga Namulondo Investments (erabirira ebizimbe); Majestic Brands (ekolagana ne bannamikago abakozesa erinnya lyaffe okutunda eby’amaguzi byabwe); era ne tubaako ne kkampuni ezaaliwo naye nga zaali zaggwamu amaanyi, ze twazza obuggya, nga BICUL (mwetuyita okufuna bamusigansimbi) ne BUCADEF (ekola ku byobulimi n’enkulaakulana mu byalo). Essuubiryo Zambogo SACCO nayo yatongozebwa nga twagala abavubuka bayige okufi ssa, okutereka n’okusiga.

Emikago egiwerako nagyo gitondeddwawo ekivuddemu okuzza essimu yaffe eya K2 Telecom ku mpewo; okusogola bbiya wa Engule; n’amazzi agayitibwa Olwendo.

Tusobodde n’okufuna obuvujjirizi obw’amaanyi obw’omupiira gw’Amazasa (ogw’akamalirizo e Namboole 2018 gwalabwa abaasukka mu 50,000), ate n’emisinde mubunabyalo egy’amazaalibwa ga Bbaffe (egy’omwaka guno gyasomboola abantu abakyasinze obungi mu Uganda).

Emisinde gitegekebwa olw’okuwagira emiramwa egifa ku byobulamu. Emyaka esatu egyasooka Kabaka yawaayo ensimbi kumpi obukadde 200 mu kulwanyisa obulwadde bw’ekikulukuto; ate we tutuukidde wano kumpi obukadde 550 ziweereddwayo okulwanyisa obulwadde bwa nnalubiri (sickle cell).

Mu bbanga lino Obwakabaka butegese ensiisira z’ebyobulamu nga tulwanyisa obulwadde bwa mukenenya, anti era Omuteregga yalondebwa ab’ekibiina ky’amawanga amagatte (UNAIDS) ng’emunnyenye y’okulwanyisa mukenenya mu Afrika.

Emyaka omukaaga era gibaddemu kaweefube ow’amaanyi ow’okulwanyisa obwavu.

Nga ndi wamu ne bannange tutalaaze ebyalo nga tukuutira abantu okuddamu okulima mu nteekateeka ya Emmwaanyi Terimba.

Enteekateeka eyo tekoma ku mmwanyi zokka, ezingiramu n’okulima amatooke, muwogo, lumonde wamu n’okulunda. Ekimu ku bibala bya Emmwanyi Terimba kwe kwagazisa abavubuka okulima n’okulunda.

Omuntu bw’ambuuza emyaka omukaaga bwe gibadde, mwanukula nti gibaddemu ebintu nkumuliitu. Kyokka nze ngirabye ng’egibaddemu okuzuukusa, naddala abavubuka, okwetaba mu lugendo lwe tuliko olw’okuzza Buganda ku ntikko.

Uganda eri mu kusoomozebwa olw’embeera ey’okusika omugwa ku ludda lw’ebyobufuzi, wamu n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu n’ettemu.

Nga bulijjo, nkubiriza enjuyi zonna ez’ebyobufuzi okuwuliziganya, okuteeseganya n’okussiηηanamu ekitiibwa, nga ziruηηamizibwa abantu ebeesigika, tusobole okufuna ebiseera eby’omu maaso ebirimu eddembe n’enkulaakulana.

Ensonga ezikwata ku bukulembeze zisaana okusoosowazibwa; ate ku ludda lwaffe, tukyasibidde ku nfuga ey’okugabana obuyinza eya federo. Ensonga enkulu ennyo etuukiddwako mu myaka gyange omukaaga nga Katikkiro bye bikujjuko bya Jubireewo, nga tusanyuka olw’emyaka 25 nga Kabaka Mutebi II atudde ku Namulondo.

Wetutuukidde wano, tubadde twakayita mu nkuuka ssatu: amatikkira ga 1993; embaga ya Kabaka eya 1999; ate ne Jubireewo ya 2018. Nafuna omukisa okwenyigira mu nteekateeka z’emikolo ebiri egyasooka; kyokka ate kibadde kya nkizo gy’endi okuba nti nze nnateekatee Jubireewo, nga Katikkiro.

Abalisoma ebyafaayo baliraba ebimu ku bino ebyakolebwa olwa Jubireewo: okumaliriza okuddaabiriza Twekobe n’okugissaamu ebibajje oluvannyuma lw’emyaka 23 nga amagye gaamuse Olubiri; okuddaabiriza/okuzzaawo Butikkio n’okugiyingira oluvannyuma lw’emyaka 52 nga tewali Katikkiro agikozesezza; omujaguza yennyini okutongoza ekijjukizo eky’ennyumba Kabaka Mulondo esangibwa ku Buganda Royal Institute; wamu n’okussaawo ebibumbe by’ebika ku luguudo Kabakanjagala.

Ekirala ekirijjukirwa, ng’ojjeeko ebbiina ly’abantu eryeyiwa ku mikolo, bwe bugenyi bwa Asantehene Osei Otumfuo Tutu II okuva e Ghana eyajja okujagulizaako Kabaka waffe.

Okuba nti bino byonna twabituukako mu bbanga nga ntambuza omwaka gwange ogw’omukaaga ogw’obuweereza nga Katikkiro kimbugaanya essanyu.

Obuwanguzi obutonotono mbulombozze olw’okwagala okulaga nti bwe tutambulira awamu tusobola okutuuka ku binene, nga tulondoola ekiruubirirwa ekikulu eky’okuzza Buganda ku ntikko. Nneebaza bonna be tukoze nabo, baminisita, abamasaza, abakungu n’abaweereza b’Obwakabaka.

Obwannakyewa buzadde ebibala nkumu mu myaka omukaaga, ne mu 25 agyakayita nga Kabaka Mutebi alamula.

Nneebaza bakatikkiro abankulemberamu ne baminisita n’abaami abaawummula abaatukolera ebingi ennyo.

Kati baminisita batono n’emirimu balina mingi, naye mbalinamu obwesige n’essuubi ddene. Sisobola kulombojja buwagizi bwe nzize nfuna mu myaka omukaaga egyakayita.

Abakulembeze b’eddiini zonna bannyaniriza bulijjo; bannabyabufuzi, ababaka b’amawanga, ebibiina by’obwannakyewa, bonna tukolaganye bulungi era nsiima. Leero sirina kye nnyinza kwogera ku bantu ba bulijjo: okuba nti nkyayanirizibwa n’ebbugumu kumpi buli we ntuuka kabonero ka bwesigwa.

Bwentyo nno nga ntandika omwaka gwange omulala nga nkutte Ddamula mbasuubiza obuweereza obw’obwesimbu n’amazima, eri Kabaka wange n’Eggwanga lyange.

Ayi Katonda kuuma Kabaka waffe!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo