TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza ebyuma bya situdiyo abayimbi ba kuno bafulumye ennyimba ezivuganya ez’ebweru

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza ebyuma bya situdiyo abayimbi ba kuno bafulumye ennyimba ezivuganya ez’ebweru

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2019

KABAKA Mutebi II ayise Sultan Muhammadu Sa’ad Abubakar III, omukulembeze w’Obwakabaka bwa Sokoto mu Nigeria okubeerawo ng’omugenyi ow’enjawulo ku Matikkira ge ag’emyaka 26.

Banja 703x422

Kabaka (owookusatu ku ddyo) nga yeetegereza ebyamutonerwa Sultan (wakati mu byeru) lwe yakyala kuno mu 2017.

Ekikolwa kino kimu ku bigendererwa bya Kabaka eby’okwongera okutumbula enkolagana n’obukulembeze bw’ennono obulala okwetooloola ensi.

Omwaka oguwedde ku mikolo gy’emyaka 25, Kabaka yayita Asantehene Osei Tutu II ow’Obwakabaka bwa Asante mu Ghana.

Okusinziira ku nteekateeka ezigenda mu maaso, Sultan Abubakar III asuubirwa okumala kuno ennaku ssatu.

Ono yajjako wano mu Uganda mu November 2017 n’ayanirizibwa mu Lubiri e Mmengo nga November 9, 2017. Ku mulundi ogwo yali azze okwetaba ku matikkira ga yunivaiste y’Obusiraamu mu Uganda.

EBIKWATA KU SULTAN MUHAMMADU SA’AD ABUBAKAR III

 Sultan Abubakar III ye mukulembeze owa 20 owa Sokoto ekisangibwa mu bukiikakkono bwa Nigeria.

 Y’akulira ekibiina ekitumbula Obusiraamu ekiyitibwa Jama’atu Nasril Islam-JNI (mu Lungereza ekivvuunulwa nti ‘Society for the Support of Islam).

 Ye mukulembeze ow’oku ntikko ow’olukiiko olugatta Abasiraamu mu Nigeria (National Supreme Council For Islamic Affairs-NSCIA. Mu bukulembeze bwe buno yaatwala Abasiraamu b’e Nigeria abawera obukadde 70.

 Sa’ad Abubakar III yazaalibwa August 24, 1956 mu Sokoto.

 Yasikira muganda we Muhammadu Maccido eyafi ira mu kabenje k’ennyonyi nga October 29, 2006.

 Azaalibwa Siddiq Abubakar III era musajja munnamagye ng’ali ku ddaala lya Brigadier General.

 Mu kusoma yayita mu Nigerian Defence Academy, Armed Forces Command and Staff College, Jaji, Barewa College.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bba wa Julie Angume talabiseeko...

JULIE Angume ebintu bimutabuseeko bbaawe omupya, Sam Sekajugo bw’atalabiseeko ku mukolo gwe ogw’okumwanjula mu...

Fanayo 220x290

Obukodyo mukaaga bwe nkozesa okulembeka...

OBUYIIYA bwa ssente ebiseera ebisinga kiva ku kusoma embeera gy’otambuliramu, kati mu kaseera nga kano ak’ennaku...

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.