TOP
  • Home
  • Buganda
  • Abalina ebitone mukozese omukisa gwe mufuna okwezimba nga temunnava ku maapu

Abalina ebitone mukozese omukisa gwe mufuna okwezimba nga temunnava ku maapu

By Lilian Nalubega

Added 22nd July 2019

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 703x422

Onyango ng'akwasa Katikkiro Mayiga omujoozi gwe yazannyiddemu empaka za AFCON e Misiri

Bya Lilian Nalubega

Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga The Cranes, Denis Onyango Masinde n'amusiima olw'okuba omu ku bantu abakoze ennyo okussa eggwanga lyabwe ku maapu y’ensi yonna.

 atikkiro ayiga ngayambaza nyango akabonero ka uganda Katikkiro Mayiga ng'ayambaza Onyango akabonero ka Buganda

 

Ensisinkano yabadde mu Bulange e Mmengo gye buvuddeko, era Katikkiro yakalaatidde abazannyi abayitimuse mu mizannyo okuwabula abazannyi abato n'okubakubiriza okuyiga okutereka ate n'okubaako ebintu eby'enkukunala mwe bassa ensimbi zaabwe.

"Abatasobola kukola yinvesitimenti  waakiri ssente zaabwe bazisse mu ttaka kubanga bajja kukungula," Katikkiro Mayiga bwe yagambye n'akubiriza abantu okwenyumiriza bulijjo mu bantu abaliko bye bakoze ate n'okubazzaamu amaanyi.

 nyango ku kkono era yakwasizza atikkiro ayiga omujoozi gwazannyiramu mu ttiimu ye eya undowns eye outh frika Onyango (ku kkono) era yakwasizza Katikkiro Mayiga omujoozi gw'azannyiramu mu ttiimu ye eya Sundowns ey'e South Afrika

 

Yajjukizza abazannyi okujjumbira okunnyikiza empisa mu mizannyo kubanga lino kkubo eriyamba emizannyo okuyitimuka ate ekiweesa eggwanga ekitiibwa.

Onyango yasabye abantu okuwagira ttiimu y'eggwanga The Cranes nga bwe bawagira emipiira gy'Amasaza mu Buganda ate n'okuwagira ttiimu yonna so si bantu Ssekinnoomu.

 atikkiro ayiga ngaliko byannyonnyola nyango bwe yabadde amusiibula Katikkiro Mayiga ng'aliko by'annyonnyola Onyango bwe yabadde amusiibula

 

Katikkiro yatonedde Onyango akabonero ka Buganda ke yamunaanise ku kkooti ate ne Onyango n'amutonera omujoozi gwe yazannyiddemu mu mpaka za AFCON omwaka guno.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600