TOP
  • Home
  • Buganda
  • Abaana b’eyali ow’Essiga lya Kanajje batanziddwa ente buli omu lwa kukuba bakulu ba Kika mayinja mukuziika kitaabwe

Abaana b’eyali ow’Essiga lya Kanajje batanziddwa ente buli omu lwa kukuba bakulu ba Kika mayinja mukuziika kitaabwe

By Lilian Nalubega

Added 29th July 2019

Abeesenza ku ttaka ly'Amasiga g'ekika ky' Empologoma bubakeeredde, kkooti y'ey'okubalamula

Mpologoma5webuse 703x422

Omutaka Nnamuguzi omukulu w'Ekika ky'Empologoma (ku kkono) ne Katikkiro w'ekika, Kisekka Ddungu ng'ayogera ku mbuga emu gye baalambudde

Bya Lilian Nalubega

Omutaka Wilson Ndawula Ssebuganda Nnamuguzi, omukulu w’Ekika ky’Empologoma alabudde bazzukulu be abeefunyiridde okwegabanya n’okutunda ettaka ly’ekika okukikomya mbagirawo nti kubanga mu kino baakusaanyaawo obutaka bwabwe olwo abaana be bazaala gye buggya baleme kuba na nsibuko.

Nnamuguzi bino yabyogedde alambula ettaka eriweza mayiro nnya e Kasaka mu Buddu Kabaka lye yawa abaamasiga ana (4) mu Kika ky’Empologoma okusimbangako emiti gy’emituba okukomaganga embugo ze kyokka nga zino zaasangiddwa zisengeddwaako abantu n’endala ng’abaana b’abaaliko abakulembeze mu Masiga gano balyeddizza.

Ssebuganda yasookedde ku kyalo ky’e Wamala mu Kasaka ku Ssiga lya Lubyayi erikulemberwa Pius Sserwadda Kiwanuka Waswa ng’eno embuga ye yasangiddwa ku yiika bbiri n’ekitundu zokka, yagenze e Kijujuzi ku ssiga lya Kanajje erikuumibwa Katikkiro waalyo Ssaalongo Edward  Kayondo owa (Kayondo Plaza e Masaka) oluvannyuma lw’eyali alikulira (Kanajje) okufa ebbanga ttono eriyise ng’embuga ye yasangiddwa ku yiika 10.

 bakulu bekika kympologoma nga bava okulambula ku mbuga emu Abakulu b'ekika ky'Empologoma nga bava okulambula ku mbuga emu

 

Yeeyongeddeyo e Birongo ku ssiga lya Kiyuuka eritwalibwa Christopher Kalema n’oluvannyuma ne yeeyongerayo e Kaamulagadde ku ssiga lya Kasendwa erikulemberwa Steven Jjuuko nga bano baasangiddwa tebalina mbuga za butaka bwabwe nga wonna waasengawo be baayise bannakigwanyizi.

Ssebuganda yakubye olukiiko ku mbuga ya Kanajje nga wano we yasinzidde n’alabula abeesenza ku ttaka lino nti, ensonga zaalyo zaakutwalibwa mu kkooti z’amateeka ziramule.

Katikkiro w’ekika ky’e Mpologoma, Omutaka Patrick Kisekka Ddungu yaloopedde Ssebuganda nga bwe batutte ebbanga ddene nga batuula mu nsonga z’ettaka lino n’abaana Nnabuufu ne Nakalema abamu ku baali abaana ba Emilio Luwaga eyali Katikkiro w’essiga lya Lubyayi nga kitaabwe yali musika w’eyali omukuumi w’ettaka eryo nti kyokka ebituukibwako Ekika babiziimuula.

Pius Sserwadda Kiwanuka Waswa, Ow’essiga Lubyayi agamba nti ebintu bingi biremye okukolebwa lwa kubulwa buwagizi bw’Abazzukulu

 

Ono yasomedde abaana b’eyali ow’Essiga lya Kanajje ekkumi n’abasatu (13) ekibonerezo ekyabaweereddwa olw’okukuba amayinja abakulembeze b’olukiiko olufuzi olw’ekika bwe baali bagenze okuziika kitaabwe ng’abaana bawakanya eky’okumuziika ku mbuga so nga Ekika kyali kyagala aziikibwe ku butaka bwe awali ba Kanajje abalala.”

Buli mwana omulenzi waakutanga ente ennume ate omuwala ente enkazi nga Ekika si kyakuta lumbe lwa kitaabwe kwabizibwa okutuusa nga batanze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Taxi2 220x290

Enkuba egoyezza Kampala; Ppaaka...

Enkuba ekedde okutonnya mu Kampala erese abatambuze tebalina we bayita.

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa