TOP
  • Home
  • Buganda
  • Ab'ekika ky'Enseenene banjulidde Katikkiro omukulu w'ekika omuggya

Ab'ekika ky'Enseenene banjulidde Katikkiro omukulu w'ekika omuggya

By Lilian Nalubega

Added 8th August 2019

Omwana ow'emyaka esatu, Adnan Kalibbala ayanjuliddwa Katikkiro Peter Mayiga ng'omukulu w'ekika ky'enseenene omuggya

Omuggya31webuse 703x422

Katikkiro Charles Peter Mayiga, Omutaka Adnan Kalibbala omuggya (atudde ku ntebe), Lubuga we Rehema Nakimera ne Katikkiro w'ekika (ku ddyo) Robert Mujabi Kajubi ku Bulange.

Bya Lilian Nalubega

Omukulu w’Ekika ky’ Enseenene, Omutaka Kalibbala e Nsiisi - Bbala omuggya ayanjuliddwa Katikkiro mu Bulange e Mmengo abataka abakulu b'obusolya ne basaba abakuza be batunuulirwe n'eriiso ejjoji okulaba nga bamukuza mu kitiibwa n'empisa ezigwanidde.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yagambye nti ky'ekiseera abakuza abaalondeddwa okukuza omutaka Adnan Kalibbala eyatuuziddwa ku bukulu buno ku myaka esatu gyokka nga wa ggonjebwa, wa mpisa, asomesebwe, era bamuwagire okulaba nga Ekika akitwala mu maaso.

 mutaka alibbala nga bamuyimiriza ku ntebe okumulaga atikkiro ayiga mu ulange e mengo ku wokusatu u kkono ye ubuga we ehema akimera  Omutaka Kalibbala nga bamuyimiriza ku ntebe okumulaga Katikkiro Mayiga mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu. Ku kkono ye, Lubuga we Rehema Nakimera

 

Yo e Nsiisi Bbala ku butaka bw'ekika kino, abakungubazi baatandise okwekuluumulula nga beeyiwayo oluvannyuma lw'omubiri gw'omugenzi Omutaka Nsozi Kalibbala okuggyibwa mu maka g’abakuuma abafu e Mulago ne gutuusibwa ku butaka emisana ya leero era nga waabaddeyo n'okusabira omugenzi.

Okusinziira ku Mutaka Patrick Kisekka Ddungu, Katikkiro w’ekika ky’e Mpologoma era Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka okuziika, entaana omugenda okuziikibwa omutaka Kalibbala yasimiddwa mu buwanvu bwa ffuuti 15 ate obugazi bwa ffuuti munaana nga waakuziikibwa mu mbugo ezisoba mu kikumi.

 mutaka dnan alibbala  mu maaso ku ddaala erisooka eyazze ku bukulu bwekika kye seenene nga yaakamala okwanjulirwa atikkiro ayiga nabataka mu ulange e mengo ssaako abekika kynseenene abaamuwerekeddeko Omutaka Adnan Kalibbala mu maaso ku ddaala erisooka eyazze ku bukulu bw'ekika ky'e Nseenene nga yaakamala okwanjulirwa Katikkiro Mayiga n'abataka mu Bulange e Mmengo ssaako ab'ekika ky'Enseenene abaamuwerekeddeko

 

“Abataka abakulu b’obusolya buli omu yaleese Olubugo, ab’amasiga, ennyiriri, emituba, n’Abazzukulu ba ssekinnoomu n’emikwano baawaddeyo embugo okuziika omutaka mu kitiibwa.

Omugenzi waakuziikibwa leero ku ssaawa 10:00 ez'akawungeezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...