TOP
  • Home
  • Buganda
  • Omutaka w'Enseenene aziikiddwa omusika Adnan Nsozi n'atuuzibwa

Omutaka w'Enseenene aziikiddwa omusika Adnan Nsozi n'atuuzibwa

By Lilian Nalubega

Added 9th August 2019

Ab'ekika ky'enseenene basiibudde jjajjaabwe George Nsozi Kalibbala eyeesittadde, ate n'okwaniriza omusika we Adnan Nsozi ow'emyaka 4

Nsozi01webuse1 703x422

Entaana omwaziikiddwa eyabadde omukulu w'ekika ky'e Nseenene eya fuuti 15, wano ng'Abataka basseeyo ku ddaala okumugalamiza obulungi

Bya Lilian Nalubega

Omutaka George Nsozi Kalibbala Kalibbala 62, abadde omukulu w'ekika ky'Enseenene yaziikiddwa ku butaka bw'ekika kino e Nsiisi mu Busujju Ssaabasajja Kabaka n'amutendereza olw'obujjumbize bw'abadde nabwo mu kuweereza Ekika kye n'Obwakabaka.

Obubaka bwa Ssaabasajja bwamusomeddwa minisita we ow'ensonga z'ebyobuwangwa, embiri n'ennono e Mmengo David Kyewalabye Male nga yayogedde ku mugenzi ng'abadde omujjumbize era akoze obuteebalira ng’aweereza Ekika kye ate nga ne mu nkiiko z'Abataka abadde teyeeganya bwatyo n'asaasira abazzukulu olw'okuviibwako Jjajjaabwe.

 bataka nga basitudde omugenzi sozi okumutwala ku kiggya we yaziikiddwa Abataka nga basitudde omugenzi Nsozi okumutwala ku kiggya we yaziikiddwa

 

Kyewalabye nga tannasoma bubaka bwa Kabaka yasoose kuwabula Bakungubazi nti, Omutaka tafa oba okukisa omukono wabula ‘yeesittala n'agwa’ ate nga ye Kabaka ‘akisa mukono’ olwo  Nnamasole n'ab'olulyo olulangira bo boogerwako nga ‘abaseerera’.

Abakulu b'ebika y'abakubirizza okuteekawo ennaku ez'okulamaganga ku butaka buli mwaka kyongere okusembeza abazzukulu ate nga n'oluusi Kabaka akyayinzanga okusiima n'alamaga ku butaka bw'aba asazeewo.

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Busujju, Mark Jjingo Kaberenge II ye yasomye obubaka bwa Katikkiro ng’ono yajjukizza abantu nga Obuganda bwe bugenda nga buseeseetuka era n'abakubiriza okussa essira ku ntanda omutanda gy'abasibirira buli olukedde ng’ayagala beegatte nga bakola olw'okwekulaakulanya.

 anduuko eyabadde ereeteddwa yazziddwaayo Sanduuko eyabadde ereeteddwa yazziddwaayo

 

Sipiika w'olukiiko lwa Buganda, Nelson Kawalya yeebazizza abantu abaakoze okulaba nga Omutaka aziikibwa mu kitiibwa.

Okuziika

Ssentebe w'olukiiko olwategese okuziika Omutaka Kalibbala, Omutaka Patrick Kisekka Ddungu yagambye nti lwayise mu mitendera egy'ennono ng’omutaka yaziikiddwa mu mbugo 112

 era nga omulambo gwe gwasituddwa ku kannyo akaawundiddwa obulungi n'embugo era nga baatindizze akagendo akawerako okutuuka gye yaziikiddwa.

Ab'emituba 12 nga bonna baabadde bambadde kkanzu enjeru nga beesibye ebimyu ate mu bigere nga tebambadde ngatto be baasitudde omufu.

 mwana dnan sozi eyasikidde kitaawe  eorge sozi nga bamusumikira Omwana Adnan Nsozi eyasikidde kitaawe George Nsozi nga bamusumikira

 

Ku ntaana eyabadde eya ffuuti 15 baataddeyo ddaala okusobola okukkayo era nga bakira abantu abaakung’aanye okuziika basindikagana wakati mu kuyoogaana nga batya okugwaayo. Abataka ab'emituba basse mu ntaana okulinda omufu era nga waliwo abaalinnye ku ddaala ne ku bifunvu ebyalekeddwaamu okuyambako omufu okutuuka ku baabadde mu ntaana wansi obulungi.

omulambo baagussizza mu ntaana na nfuvu ezaabadde empanvu ddala kumpi ffuuti 40 buli limu, n'oluvannyuma ne babikka embugo endala ku mufu olwo ne balyoka bavaayo okuziika.

inisita  yewalabye ale ku kkono nabataka bobusolya nga balega ku mwengeMinisita Kyewalabye Male (ku kkono) n'abataka b'obusolya nga balega ku mwenge

 

Enkola eno yawuniikirizza abantu bangi nga bakira balabwako nga bakwata ebigenda mu maaso ku masimu.

Okutuuza Omutaka Nsozi Kalibbala Adnan 4, ku bukulembeze

Lyabadde ssanyu wakati mu kukuba enduulu n'engalo ng'abazzukulu mu Kika ky'e Nseenene  baayanirizza Jjajjaabwe omuggya, Omutaka Adnan Nsozi Kalibbala eyabalagiddwa amangu ng’omutaka George Nsozi aziikiddwa ku Lwokuna.

mutaka sozi ne ubuga we emabega be bataka abakulu bobusolya nga baaniriza muganda waabweOmutaka Nsozi ne Lubuga we, emabega be bataka abakulu b'obusolya nga baaniriza muganda waabwe

 

Abataka abakulu b'obusolya nga bakulembeddwa Omutaka Kayiira Gajuule beetabye ku mukolo guno era ne basumikira Omutaka okuba omukozi n'okwagala Kabaka we n'Ekika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte