Yasoomoozezza bonna abeegwanyiza ebifo by’obukulembeze mu kalulu ka 2021, baweereze Kabaka nga tebeebalirira naye baleme kugatikka buweereza mu Bwakabaka na byabufuzi.
Nakibirige bino yabyogeredde ku mukolo ogwabadde mu ggombolola y’e Ssaabagabo mu muluka gw’e Lufuka ku mukolo gw’okutongoza ekibiina ky’abakyala abakola ebyemikono n’okukola ssabbuuni. Bw’atyo Kaggo Nakibirige bwe yategeezezza.