TOP

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza obulimi

By Lilian Nalubega

Added 17th September 2019

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu mwangu ate nga bulimu amagoba

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 703x422

Katikkiro Mayiga ng'akwasa aboogezi b'oku mikolo satifikeeti gye baaguze

Bya Lilian Nalubega

Abantu ba Kabaka okuva mu Ssaza ly'e Buluuli n’e Ssese bakiise embuga mu nkola ey’oluwalo lwange ne bawaayo ensimbi ezisobye mu 6,000,000/-.

Bano beegattiddwaako aba Toyota Uganda abaakulembeddwamu Joweria Butene abaawaddeyo ebyuma ebikebera obulwadde bwa siikoseero 200 bye baakwasizza Katikkiro Charles Peter Mayiga naye oluvannyuma eyabikwasizza aba Central Public Laboratories abakola omulimu guno.

atikkiro harles eter ayiga ngakwasa aba ggombolola ya usaale abinyonyi ebirabo okuli ekifaananyi kya abaka ne satifikeeti ebasiima olwokuwaayo oluwalo lwabwe Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'akwasa aba ggombolola ya Musaale Wabinyonyi ebirabo okuli ekifaananyi kya Kabaka ne satifikeeti ebasiima olw'okuwaayo oluwalo lwabwe

 

Omukolo ogwabadde mu bimuli bya Bulange gwetabiddwaako aba Ssuubiryo Zambogo SACCO abaakulemberwamu Dr. Peter Kibuuka eyabuulidde abantu obukulu bw'okutereka ensimbi, abatuuze, okuva mu ggombolola Musaale. Wabinyonyi abaakulembeddwa Muky. Nankumba baawadde 2,000,000/-. Abalala baavudde mu Ggombolola Mumyuka Kakooge, mumyuka Nakasongola, aba ggombolola Kalongo, ne Ssaabaddu Nabiswera. Abalala kwabaddeko abakyala abeegattira mu kibiina kya Ffenna ku Nnaabagereka.

Abas Lunninze, omukubiriza w'olukiiko lw'Essaza Buluuli ku lwa Kimbugwe, yagumizza Katikkiro ng’ensi bw'esobola okuwakanya by'ayogera nti, kyokka tesobola kuwakanya bikolwa bye nga kino akyolekedde mw'ebyo by'akoze mu bbanga lye yaakamala ku bwa Katikkiro. Baamwanjuludde nga Kimbugwe bw'azimbye ofiisi ya mizigo esatu, bayingizza amazzi ag'emidumu mu Lubiri lwa Kabaka n'okulusibako bbugwe era ne beebaza Kabaka olw'okubasoosowaza n'abawa amazzi amayonjo.

 Katikkiro ng'akwasa abakyala ba FFenna ku Nnaabagereka ekirabo

 

Katikkiro Charles Peter Mayiga yabakubirizza obutasuulirira bulimi bw'emmwaanyi n'ebitooke kubanga tewali mulimu gutali muzibu ng’abamu bwe batya obulimi.

Yasiimye abaami b'e Buluuli be yagambye nti, bamalirivu abatatya kutiisibwatiisibwa olw'ebyo bye bakoze okuteekawo ofiisi z'essaza e Buluuli kyokka n'abawa amagezi bakole bye bakkiririzaamu beewale ababasoomooza.

"Abantu mbagamba nti, Buganda lwazi ate teri kitakya..." Katikkiro bwe yagambye.

Yakyukidde aboogezi b’oku mikolo be yayise ababaka ba Buganda n'abakubiriza okunnyikiza empagi za Buganda kw’erina okutambulira nga balung’amya abantu ku mpisa zaabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dece 220x290

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu...

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga...

Kola703422 220x290

Nnoonya mwana wa bulenzi

NNINA abaana abawala basatu, era ndi mufumbo. Nnina omusajja anjagala agamba nti asobola okukyusa oluzaalo ne nzaala...

Sinza 220x290

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka...

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa...

Like 220x290

Minisita azzizza ab’e Gomba ku...

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja...

Kika 220x290

Lutalo ne Eddy Yawe ebyabwe babikwasizza...

ABAYIMBI okwabadde David Lutalo, Ziza Bafana, Eddy Yawe, Dr.Propa, Joseph Ngoma n’abalala beeyiye mu kkanisa ya...