TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen Kazimba akyadde e Mmengo

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen Kazimba akyadde e Mmengo

By Lilian Nalubega

Added 19th September 2019

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda

Kazimba8webuse 703x422

Ssaabalabirizi Stephen Kazimba ng'atuuka ku Bulange gye yasisinkanye Katikkiro Mayiga

Bya Lilian Nalubega 

Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda omulonde, Dr. Stephen Kazimba Mugalu yeeyamye nti waakusigala ng’assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda newankubadde agenda kukola mirimu gya ggwanga kubanga gwe mukono ogwaleeta eddiini mu Uganda.

 saabalabirizi azimba ngasabira atikkiro ayiga nabakozi abalala Ssaabalabirizi Kazimba ng'asabira Katikkiro Mayiga n'abakozi abalala

 

Yeebazizza Katikkiro Charles Peter Mayiga olw'obuweereza obulungi eri abantu ba Kabaka ne Buganda era n'amwebaza olw'enkulaakulana gy'akoze mu bantu ba Ssaabasajja ab'e Mityana.

Katikkiro Mayiga yatenderezza Omulabirizi Kazimba olw'ebyafaayo bye okuva ng’akyali e Katwe gye yavanga okugenda okusamba akapiira nga talina ssuubi wadde ery'okuba omubuulizi kyokka n'alondebwa ku Bwassaabalabirizi.

 atikkiro ayiga ngaliko byannyonnyola saabalabirizi azimba Katikkiro Mayiga ng'aliko by'annyonnyola Ssaabalabirizi Kazimba

 

Yamwebazizza olw'obukozi bwe yayolesa ku mwaka gumu mu bulabirizi bw'e Mityana bwe yazimba ennyumba y'omulabirizi ate n'enteekateeka ennyingi z’akoze nga ziganyula abantu awatali kusosola ddiini mu Mityana era n'amwogerako ng’ayagala omuntu atuukiridde.

Katikkiro yamusabye asabire Obwakabaka nti kubanga azimba ekibuga omutali Mukama aba azimbira bwereere era naye ne bamusuubiza okumusabira.

 saabalabirizi tephen azimba ne atikkiro ayiga ku ulange bwe yabadde amusiibula Ssaabalabirizi Stephen Kazimba ne Katikkiro Mayiga ku Bulange bwe yabadde amusiibula

 

Omukolo gwetabiddwaako omuwandiisi w'obulabirizi bw'e Mityana, Rev. Roki Ssendegeya, omumyuka w'omukubiriza w'Abakulisitaayo mu bulabirizi Norah Mbabazi, eyalondeddwa okukulemberamu enteekateeka z'okusiibula n'okutuuza omulabirizi w'e Mityana omuggya Kiyimba Freeman ne baminisita ba Kabaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...