TOP

Aba Nkobazambogo bakubiriziddwa okuzza ettutumu lyabwe ku ntikko

By Lilian Nalubega

Added 24th September 2019

Abavubuka abeegattira mu kibiina kya Nkobazambogo bakubiriziddwa okuggya ebyobufuzi mu nkola yaabwe basobole okuzza ekibiina kyabwe ku ttutumu lye baalina mu myaka egiyise

Zambogo5webuse 703x422

Polof. Badru Kateregga ng'ayogera eri aba Nkobazambogo

Bya Lilian Nalubega

Abavubuka abeegattira mu kibiina ekya Baganda Nkobazambogo basonze ku ntabwe evuddeko ekibiina okusasika ne bawera nti, baakusalira wamu amagezi okukibbulula.

Abavubuka baabadde mu lusirika lwabwe olwabadde ku Kampala University Original e Ggaba ne bategeeza nti, ebbula ly'ensimbi, ebyobufuzi n'obutamanya bye bisinze okuzing’amya ekibiina kya Nkobazambogo.

Baanokoddeyo ettutumu Nkobazambogo lye yalina emyaka nga munaana emabega mu kiseera kino eritakyaliwo lye baagambye nti, lyazimbibwa abaatandikawo ekibiina kino n'abayima baakyo abaasooka era nga wano omumyuka wa Cansala wa Kampala University era ssentebe w'olukiiko olulabirira ebyobugagga bw'ekika ky’empologoma Polof. Badru Kateregga Ddungu we yabaweeredde amagezi okutandikawo pulojekiti mu matendekero gye bava basobole okuvujjirira emirimu gyabwe bennyini.

 Shalif Lulika Mohamad, Ssentebe wa Bassentebe ba Nkobazambogo ng'ayogera eri bammemba. 

 

"Mwetaaga okusomesebwa obukulembeze mufune ekifaananyi ekituufu eky'obulamu bwammwe mu maaso. Enkola ey'okuvuma abakulu ekome, ate mwenyigire mu mirimu egitali gimu mwezuule bye musobola okukola era mulina okuba abeetoowaze nga mwagala okutuuka ku buwanguzi," Kateregga bwe yabawabudde.

Bino baabituseeko mu lusirika lw'abayizi abali mu kibiina kya Nkobazambogo mu matabi ga Kampala University olwatudde ku ttabi lyabwe ekkulu e Ggaba nga lwetabiddwamu abakulembeze ba Nkobazambogo okuva mu matendekero ag'enjawulo n'abayizi mu siniya ne nassale.

Minisita w'ensonga z'abavubuka e Mmengo, Henry Ssekabembe Kiberu mu bubaka bwe yatisse omukungu mu ofiisi ye, William Kijjambu yagambye nti; abayizi balina okussa essira ku kumanya nti ekibatwala ku masomero kusoma olwo balyoke basse ekitiibwa mw'ebyo bye basuubira okubazimba mu bulamu bwabwe obw’omu maaso.

"Temweganya kwenyigira mu bintu nga emizannyo, emirimu egitali gimu egikolebwa ekibiina kyammwe ate ne ku matendekero gye muli okutwaliza awamu kubanga abantu abamu basoma kyokka ebitone byabwe ne bibaganyula okusinga ebyo bye basoma," Kijjambu bwe yagambye.

Yabakubirizza okwekuuma nga beewala ebikolwa eby'okwegadanga n'abantu be batamanyi mbeera zaabwe ate era n'abasaba okwekebeza buli lwe bafuna omukisa bamanye bwe bayimiridde mu byobulamu.

 asacca ngayogera eri aba kobazambogo Henry Kasacca ng'ayogera eri aba Nkobazambogo

 

Henry Kasacca, akiikirira abavubuka mu lukiiko lwa Buganda era nga ye yabadde omusomesa omukulu okuddirira kw'ekibiina kya Nkobazambogo yakutadde ku bakulembeze abakiyingizzaamu ebyobufuzi ne kiva ku mulamwa nga mu kiseera kino n'abakulembeze abaliko bangi basooka kukola kakuyege olwo bannaabwe ne babalonda okubakulembera.

Yagasseeko empisa eziserebye nga bangi ennono yaabwe baagivaako, abatamanyi tebaagala kwebuuza ku babasinga ate nga n'obutaka bwabwe bangi tebaagala kumanya bibukwatako.

"Tewali muntu ayinza kugenda mu maaso nga tamanyi gy'avudde. mulina okuddamu enkola ey'okulamaga ku butaka bwammwe, mumanye gye musibuka muweebwe omukisa bajjajjammwe ate n'okwongera okumanya ennono zammwe. Gino emisomo gya bassenga abamu gye mutegeka ne muva ku  mulamwa gwagyo mulina okusookanga  okufuna okulambikibwa olwo mugitegeke nga mulina ekigendererwa okusinga okugikozesa okufuuka ebitagasa," Kasacca bwe yakkaatirizza.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...