TOP

Nnaabagereka Sylvia Nagginda asakidde Abasiraamu

By Lilian Nalubega

Added 4th October 2019

Nnaabagereka wa Buganda, Sylvia Nagginda asakidde Anasiraamu Kulaani n'emisaalo okuva ew'Omulangira Sheik Saeed bin Maktoom Rashid Almaktoum e Dubai

Kaawaase1webusebig 703x422

Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda Asooka, Hajji Twaha Kaawaase ng'akwasa Sheikh Hamid Kateregga eyakiikiridde Supreme Mufti Kulaani

Bya Lilian Nalubega

Nnaabagereka wa Buganda Sylvia Nagginda asakidde Abasiraamu okwetooloola Buganda Kulaani n’emisaalo mu kaweeefube ow'okulaba nga bano bongera okunnyikiza okukkiriza kwabwe.

Nnaabagereka ebintu yabisase kuva Dubai nga byamuweereddwa oluvannyuma lw'okukyalira Bannayuganda abaliyo gye buvuddeko abaamukwataganya n'omulangira Sheik Saeed bin Maktoom Rashid Almaktoum eyayanukudde okusaba kwe kuno n'abatonera Kulaani eziwera.

mumyuka wa atikkiro sooka waha aawaase ngakwasa basiraamu emisaalo egyabaweereddwaOmumyuka wa Katikkiro Asooka, Twaha Kaawaase ng'akwasa Abasiraamu emisaalo egyabaweereddwa

 

Omumyuka asooka owa Katikkiro e Mmengo, Hajji Twaha Kaawaase yagambye nti nga Abasiraamu basanyufu olw'omutima Nnaabagereka Nagginda  gwe yayolesezza n'okwagala okunnyikiza eddiini y'Obusiraamu mu mitima gy'abakkiriza n'asaba abaaweereddwa ebitabo bino n'emisaalo okubikozesa obulungi.

Bino byaweereddwa ebitongole by'Obwakabaka, amasomero, emizikiti n'abantu ssekinnoomu era nga yabasabye obutabiteeka mu mayumba gaabwe kubyebakako wabula bikole omulimu gwa Allah.

Ab'emizikiti, Katikkiro oba abakungu ba Kabaka yonna gye bigabiddwa baakubikozesa awatali kusooka kusaba oba kulaga nti bajja kubikozesa noolwekyo njagala okumanya emizikiti ebintu bino gye bigenze era tujja kubirondoola.

 bamu ku baafunye ulaani nga basanyufu Abamu ku baafunye Kulaani nga basanyufu

 

Supreme Mufti Siriman Ndirangwa eyakiikiriddwa Sheikh Hamid Kateregga yeebazizza Nnaabagereka n'Obwakabaka okutwalira awamu olw'okwagala Obusiraamu.

Ye omubaka wa Kabaka e Dubai, Abas Nsubuga Haroonah yagambye nti basanyufu okulaba ng’ebintu bya Nnaabagereka byasobodde okutuuka kuno.

Yategeezezza nti, bano nga bali wamu n'abasuubuzi bonna abava kuno nga basuubulira Dubai baakwetaba mu Ttabamiruka ow'omwaka guno nga waakubeera mu kibuga kino nga October 17, 2019 era asabye abasuubuzi okubeerayo bamanye ebipya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got11 220x290

Engeri enkuba gye yagotaanyizza...

Engeri enkuba gye yagotaanyizza entambula n'okugoya amayumba e Ndejje

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala