TOP

Mukulize abaana mu mpisa - Nnabagereka

By Musasi wa Bukedde

Added 6th October 2019

NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda asoomoozezza abazadde okukomya okwogera nti abaana babalemeredde wabula beenenye bokka.

United 703x422

Nnaabagereka ng’atuuka ku Hotel Africana mu Kampala. Ku kkono ye Dr. Nankindu Kavuma n’abakungu abalala.

Bino yabyogeredde ku Hotel Africana ku Lwokutaano nga October 4, 2019 ku mukolo gw’okujjukira olunaku lw’omwana omuwala mu nsi yonna wansi w’omulamwa ogugamba nti “Okusibusa obuntubulamu ku lw’okukomya okufumbiza abaana abatanneetuuka.”

“Omwana okukulemerera ebiseera ebisinga kiva ku butamuteekamu mpisa mu buto bwe.

Tugambibwa nti okuva omwana lw’azaalibwa okutuuka emyaka etaano, ekiseera ekyo kikulu nnyo okulaba nti abaana tubasigamu ensigo y’obuntubulamu.

Oluusi tutandika bamaze okusoma ne tugamba nti abaana bannemeredde ng’ate mu myaka we yali awulirira tewamukwatako,” Nnaabagereka bwe yategeezezza.

Yeebazizza gavumenti olw’amateeka g’etaddewo okutumbula omwana wa Uganda n’agamba nti okwongera ku maanyi gano yasse omukago n’ekitongole kya World Vision okulaba nga bakuza abaana ab’omugaso eri eggwanga.

Minisita w’abakyala, ebintu ebigasiza awamu abantu ba Buganda ne ofiisi ya Nnaabagereka, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yawadde amagezi abaana abavudde mu masomero ag’enjawulo mu disitulikiti mukaaga eza Buganda n’abalala nti basaanye okutegeezanga aboobuyinza mu bitundu byabwe bwe wabeerawo abantu abagezaako okusimira ettaka ku biruubirirwa byabwe .

Atwala ekitongole kya World Vision mu ggwanga, Jason Evans yategeezezza nti basanyufu okutta omukago n’ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation era bakimanyi nti obukulembeze bw’ennono bukola kinene mu kutumbula n’okugunjula empisa ennungi mu baana n’bantu.

Ate ye Kamiisona w’abaana mu minisitule y’ekikula ky’abantu n’enkulaakulana mu ggwanga, Fred Ngabirano yategeezezza nti, eggwanga lifiirwa obutitimbe bw’ensimbi olw’abaana abafumbirwa nga tebanneetuuka bwatyo n’asaba Nnaabagereka asiime bakwatagane bamalewo ekizibu kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abapya 220x290

Mmengo n'Abasiraamu bakukkulumye...

MMENGO eyogedde ku nkyukakyuka Pulezidenti Museveni ze yakoze mu baminisita n’egamba nti Bannayuganda bajja kusanyuka...

Yiwayiwa1 220x290

Eyawambye abaana 3 asabye ssente...

EYAWAMBYE abaana basatu e Kiboga n’asaba ssente, abazadde bazimuwadde kyokka n’abasala obulago emirambo n’agisuula...

Rugbyweb 220x290

Aba rugby ekisaawe tekibalemesa...

Hima Cement Heathens ewangudde Makerere Impis ne yeeywereza ku ntikko

Arteta 220x290

Tetujja kulemesa Arteta kwegatta...

Arsenal eri ku muyiggo gwa mutendesi muggya anaasikira Unai Emery eyagobwa ku nkomerero ya November.

Cecafadec152019cranesbtdjibouti41okello19571 220x290

Uganda Cranes erinze Tanzania ku...

Uganda eyagala kuwangula kikopo kya CECAFA eky'omulundi ogw'e 15.