TOP

Akola emikolo gy'okutikkira Kabaka afudde

By Lilian Nalubega

Added 8th October 2019

Omutaka eyakola emikolo egyakulembera okutikkira Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 afudde

Img20191008wa0002003usewebuse 703x422

Yoana Batista Sserwanja Ssemanobe bw'abadde afaanana

Bya Lilian Nalubega 

Omutaka Yoana Batista Sserwanja Ssemanobe, afudde oluvannyuma lw'okulwalira ebbanga.

Ssemanobe n’ono y'akola emikolo egikulemberamu okutikkirwa kwa Kabaka e Naggalabi yafa ku Lwamukaaga lwa wiiki ewedde mu ddwaaliro e Nsambya gye yasoose okujjanjabirwa obulwadde bwa sukaali ne puleesa.

 semanobe ku ddyo wa atikkiro harles eter ayiga lwe baamusisinkana ku ulange Ssemanobe (ku ddyo wa Katikkiro Charles Peter Mayiga) lwe baamusisinkana ku Bulange.

 

Omutaka Kimbowa Mukalazi nga n'ono y'omu ku bakola emikolo egy'enjawulo yategeezezza nti, Ssemanobe eyafudde ku myaka 85, ye yakola emikolo ku Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwe yali atikkirwa e Naggalabi.

Omulambo gw'omugenzi gukyakuumirwa mu ddwaaliro e Nsambya okutuusa ku Lwokutaano lwe gujja okuggyibwayo gutwalibwe mu makaage e Buddo - Naggalabi wabeerewo okusabira omugenzi ku olwo. 

Mu kiseera kino abakungubazi bakumye olumbe mu maka g'omugenzi e Naggalabi era Obwakabaka akadde konna bwa kwanjulira Obuganda enteekateeka z'okuziika omugenzi mu bujjuvu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...

Capture 220x290

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu...

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu ddwaliro: Balaajanidde abazirakisa okubadduukirira