TOP

Ab'e Busujju beejagira kukyala kwa Kabaka

By Lilian Nalubega

Added 1st November 2019

Ebika ebisibuka mu Ssaza ly'e Busujju byetegekera mutanda asuubirwa okusiima okubakyalira ku lunaku lw'abavubuka nga November 23.

Ennyumbaezimbibwakubutakabwekikakyenongeebwezamubusujjuwebusenew 703x422

Ennyumba ezimbibwa ku butaka bw'ekika ky'eng'onge e Bweza mu Busujju

Bya Lilian Nalubega 
Mu kaweefube wa Ssaabasajja ow'okulambula Obutaka bw'ebika eby'enjawulo mu Masaza gy'aba asiimye okulabikako, ebika ebisibuka mu Busujju biri mu keetalo okulaba nga bibaako enteekateeka ey'enjawulo gye biteekawo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II w'anaagendera asange nga byetegese.
Omwami wa Kabaka atwala essaza lino, Mark Jjingo Kaberenge II yategeezezza nti Ssaabasajja waakulabikako mu Busujju nga November 23, omwaka guno Obwakabaka bwe bunaaba bukuza olunaku lw'Abavubuka olwa buli mwaka.
 mutaka ayiira ajuule Omutaka Kayiira Gajuule

 

Ebimu ku bikolebwa mu Ssaza mu kiseera kino kwe kuzimba ofiisi y'Essaza ekizimbe ekyali kyatandikibwako emyaka mingi emabega, n’okuzimba ekisaawe ky'Essaza ku mbuga y'e Ggombolola y'e Maanyi n'okuzzaawo ebibira ebyatemwa mu Ssaza nga baakusookera ku mbuga z'Ebika.
Bukedde yatuuseeko  ku mbuga y'Ekika ky'e Ngonge mu Busujju ng’eno Omutaka Mathias Kaboggoza Muwanga Weesizeeki Kinkumu Kitumba Kisolo Ssebyoto 37, twamusanze ali mu keetalo okuyooyoota embuga ye.
Yagambye nti, essira kati asinze kulissa ku kulaba ng’amaliriza ennyumba y'Obutaka gye yagambye nti okusinziira ku nteekateeka eyakolebwa amanyi nti bw'eneeba ewedde yaakusitula omutindo gw'Obutaka.
 mutaka athias aboggoza isolo awazimbibwa ennyumba yekika kye Omutaka Mathias Kaboggoza Kisolo awazimbibwa ennyumba y'ekika kye

 

"Ffe tetunnategeezebwa kyokka tutya okutusanga nga tetwetegese, tulina okulindirira omugole n’ettaala zaffe nga zijjudde amafuta aleme okutuyitako,” Kisolo bwe yagambye. 
Okulambula kwa Kabaka kwa makulu era kuyamba abazzukulu okumanya ensibuko zaabwe era abangi bakwatibwako ne bakwasizaako bajjajjaabwe Abataka ate era n'okukulaakulanya ekitundu nga bakola n'okulongoosa mu nkola eya Bulungibwansi.
“Abazzukulu mbakubiriza nti, mu kaweefube ono tulina kukwatira wamu  newankubadde nga tetunnamanya ddi Ssaabasajja Kabaka lw’agenda kutulambula kyokka tulina kukakasa nti embuga yaffe ebeera eky’okulabirako eri abalala.
mwami wa abaka owessaza usujju ark jingo aberenge Omwami wa Kabaka ow'essaza Busujju, Mark Jjingo Kaberenge II

 

Twetaaga ensimbi enkalu n'ebikozesebwa kubanga tulina okuzimba okumaliriza ennyumba y'Obutaka egenda mu maaso kyokka nga tulina n’okuzimba ekigango, enju z'abaweereza, ate tusseewo ne pulojekiti ezitali zimu.
Omukubiriza w’olukiiko lw'Abataka, Omutaka Kayiira Gajuule yagambye nti mu kiseera kino embuga z'ebika yonna gye ziri zirina kuba nga ziyooyootebwa okukuuma ekitiibwa ky’obutaka.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.