TOP
  • Home
  • Buganda
  • Jjajja w'Omulangira Ssemakookiro aziikiddwa: Mmengo emukungubagidde

Jjajja w'Omulangira Ssemakookiro aziikiddwa: Mmengo emukungubagidde

By Lilian Nalubega

Added 5th November 2019

Mmengo ekungubagidde nnyina w'Omuzaana Rose Nansikombi eyaziikiddwa ku Mmande ku biggya bya bba George William Sserebe e Nswanta mu ggombolola Mutuba II Mukuma Katikamu mu Bulemeezi.

Sema1 703x422

Jjajja w'Omulangira Ssemakookiro, Christine Nnalubanjwa Sserebe ng'aziikibwa. EBIFAANANYI BYA LILIAN NALUBEGA

Mmengo ekungubagidde nnyina w'Omuzaana Rose Nansikombi eyaziikiddwa ku Mmande ku biggya bya bba George William Sserebe e Nswanta mu ggombolola Mutuba II Mukuma Katikamu  mu Bulemeezi.

 

Omukadde Christine Nnalubanjwa nga y'abadde Jajja omukyala Ow'omulangira  Richard Ssemakookiro, yafa ku Ssande oluvannyuma lw'okulwalira emyaka 32 nga alumizibwa Obuvune bw'omugongo.

Okusinziira ku bba  George William Sserebe, omugemzi yazaalibwa mu mwaka gwa 1932 ne bafumbiriganwa mu mwaka gwa 1962 omwezi gwa December era waayita emyaka mitono munne n'atandika okulumizibwa omugongo ogwamutabukira era tegwadda mabega okutuusa lweyafudde.

ipiika wolukiiko lwa uganda eyawummula elson awalya ngalaga eorge illiam serebe  ne wannyina eri abakungubaziSipiika w'olukiiko lwa Buganda eyawummula Nelson Kawalya ng'alaga George William Sserebe, ne Mwannyina eri abakungubazi

Twebaza nnyo abantu abatukwatiddeko okumujjanjaba okuli SSaabsajja Kabaka, sipiika w'olukiiko lwa Buganda eyawummula Nelson Kawalya n'abako bonna abakoze obutaweera okulaba nga munnaffe abeera obulungi" Sserebe bweyagambye.

Omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule eyeetisse obubaka bwa Katikkiro yagambye nti Obwakabaka bwanyoleddwa olw'okuviirwako omuntu abadde ow'omugaso era ne yeebaza omugenzi Nnalubanjwa olw'ebibala ebirungi by'alese munsi muno.

"Tusaaliddwa nnyo olwa Maama okutuva ku maaso kyokka era twebaza abao bonna abamujjanjabye nga Ssebo SSerebe ggwe okulembedde. Twebaza Maama olw'ebibnala by'alese munsi ate naawe tukusabira ogume" Bwatyo Mugumbule bweyagambye n'ategeeza nti Obwakabaka bw'anyoleddwa nnyo olw'ensonga eyo.

 bakungubazi mu kuziika jajja wa semakookiro Abakungubazi mu kuziika Jjajja wa Ssemakookiro

Abataka bagaanye okulaga omusika

Abataka abakulu b'obusolya nga bakulemberwamu omukubiriza waabwe Omutaka Kayiira Gajuule mu bubaka bwe baatisse Katikkiro w'ekika ky'e Mpologoma Omutaka Patrick Kisekka Ddungu baasaasidde nnyo omutaka Kalibbala ne muzzukuluwe Sserebe olw'okuviirwako Mukwano gwe. 

Mu kiseera kye kimu Kisekka yagaanye enteekateeka eyabadde ekoleddwa okulaga omusika nga baakava e Magombe  nti kubanga eno ssi mpisa ya wano mu Buganda era nga batereeza ennono tekiggya kukolebwa n'abawa amagezi okukola enteekateeka oluvannyuma.

Omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda eyawummula Nelson Kawalya yategezezza nti abadde wa munda mu nnyumba eno nga okuva bwe yalagirwa okugendanga mu kisenge omulwadde gy'abadde nga gy'amulabira n'okunyumyamu.

 mukubiriza wolukiiko lwa uganda atrick uwaga ugumbule ngayogera eri abakungubazi Omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule ng'ayogera eri abakungubazi

 

yeebazizza Sserebe olw'okufaayo ku Munne n'amulabirira nga bw'amujjanjaba ebbanga eryo lyonna awatali kumwekaanya oba okumusuulirira era n'asaba abantu okumutwala nga eky'okulabirako baleme kusuuliriranga bannabwe nga bafunye obuzibu.

Omukolo gwetabiddwako Namasole Margaret Ssiwoza, Omumbejja Nnaalinnya Dina Kigga, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, ba Nnaava n'abakungu okuva mu gavumenti eya wakati bangi newankubadde nga yye Omuzaana Nansikombi teyalabiseeko.

Rev. Can Mulyanti ow'e Kakoola bwe yabadde abuulira abantu yabasabye okudda eri Katonda nti kubanga yye tayiwa mu buli mbeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...