TOP

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba

By Lilian Nalubega

Added 20th November 2019

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Abataka1webuse 703x422

Bakatikkiro b'ebika mu lukiiko lwe baabaddemu

Bya Lilian Nalubega

Bakatikkiro b'ebika mu Buganda balayidde nga bwe batagenda kusirika busirisi ng’ebika byabwe byongera okusereba ne bategeeza nti, kino ky'ekiseera okwegatta basalire wamu amagezi okubitumbula.

Baabadde mu lukiiko lwabwe olwa buli mwezi olwatudde mu kigo ky'ekika ky'Effumbe ku luguudo Kabakanjagala ku Lwokusatu.

 atikkiro wekika kyngeye sebunnya atabula bumwe ngannyonnyola ku birina okukolebwa mu bataka baagalana Katikkiro w'ekika ky'Engeye, Ssebunnya Katabula Bbumwe ng'annyonnyola ku birina okukolebwa mu Abataka Abaagalana SACCO

 

Ssentebe w'olukiiko luno, Omutaka Patrick Kisekka Ddungu yagambye nti nga bakatikkiro b'ebika abamanyiddwa obulungi nga balina okussa mu nkola ebikolebwa mu bika kuba gye bakoma okugayaala n'ebika bye bakulembera bizing’ama.

"Tulina kuba bumu, tukolere wamu era tufube okulaba ng’ebika byaffe bitambulira ku musingi gwe gumu. Tekiggya kukola makulu ng’ekika ekimu kigenda mu maaso kyokka ekirala nga kisigalira ate ng’ebika bye bikola Obuganda," Kisekka bwe yagambye. Yakubirizza bakatikkiro okujjumbira enteekateeka z'olukiiko olubagatta eziruubirira okusitula embeera zaabwe ng’abantu ate n'ebika.

 muwandiisi wolukiiko lwa akatikkiro ku kkono ajji itandwe ne sentebe wolukiiko lwabwe isekka dungu ku ddyo ngayogera mu lukiiko  Omuwandiisi w'olukiiko lwa Bakatikkiro (ku kkono) Hajji Kitandwe ne Ssentebe w'olukiiko lwabwe, Kisekka Ddungu (ku ddyo) ng'ayogera mu lukiiko

 

Mu lukiiko lwe lumu bakatikkiro bakubye ttooci mu kibiina kyabwe eky'okuwola n'okutereka kye baatandikawo ekya  Bataka Abaagalana Sacco ne bategeeza nti bakatikkiro bangi balemye okumanya amakulu gaakyo era ssentebe waabwe Kisekka n'abasaba okujjumbira okweterekera n'okwewola beekulaakulanye.

Katikkiro w'ekika ky'e Ngeye, Omutaka Ssebunnya Bbunwe mu lukiiko luno mwe yaweeredde bakatikkiro banne amagezi buli omu okukunga bakatikkiro b'amasiga, emituba, ennyiriri, n'abazzukulu abalala mu bika okwegatta ku Sacco eno eyagunjibwawo n'ekigendererwa ekigatta ebika.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza