TOP
  • Home
  • Buganda
  • Kabaka akunze abasajja mu kaweefube w’okulwanyisa siriimu

Kabaka akunze abasajja mu kaweefube w’okulwanyisa siriimu

By Dickson Kulumba

Added 2nd December 2019

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II azzeemu okulagira abantu be mu Buganda okwekebeza siriimu n’endwadde endala ng’omu ku kaweefube anaayamba Uganda okumalawo endwadde ezo omwaka 2030 we gunaatuukira.

Uniform 703x422

Kabaka Mutebi II bwe yabadde e Kitovu gye buvuddeko.

Bino biri mu bubaka bwe obwafulumiziddwa ku lunaku ensi yonna kwe yeefumiitiririza ku bulwadde bwa siriimu buli mwaka olukuzibwa nga December 1.

Yakubirizza abasajja okukulemberamu kaweefube w’okutaasa amaka gaabwe.

“ Nga ambaasada w’ekibiina ky’amawanga amagatte ekirwanyisa mukenenya mu buvanjuba n’amaserengeta ga Africa okukubiriza abaami okwenyigira mu kaweefube w’okumalawo obulwadde buno 2030 we gunaatuukira, nkubiriza abasajja okubeera emmunyeenye z’obulamu obulungi mu bitundu byabwe nga beekebeza n’okumanya bwe bayimiridde ku bulwadde bwa mukenenya n’okwekebeza obulwadde obukosa ekibumba, kkookolo w’obusajja, akafuba ne puleesa,” Kabaka bwe yagambye mu bubaka bwe.

Yayongeddeko nti; “ Nga sinnafuulibwa ambasada n’oluvannyuma lw’okufuulibwa, nkoze ekisoboka okubawa amagezi gonna ageetaagisa ku bulwadde buno kubanga saagala muntu yenna kufa olw’obutamanya.

Ndi musanyufu okukitegeera nti bangi ku mmwe mutandise okuvaayo nga mwanukula omulanga gwange era omuwendo gw’abasajja abeekebeza gweyongedde okulinnya mu bitundu eyo obujjanjabi gye buli ate n’abo abafuna eddagala, beyongedde.

Eky’abasajja obutajjumbira kaweefube ono, Kabaka agamba nti kyetaaga okumenyebwawo okusobola okukendeeza ku muwendo gw’abaana abazaalibwa ne mukenenya n’abafa obulwadde buno, abavubuka abawala, abasajja n’abakyala.

Omulamwa okukuliziddwa olunaku luno gugamba nti “Ebitundu y’entabiro y’okulwanyisa mukenenya’.

Kabaka yamalirizza obubaka bwe ng’agamba nti; “Muli mmunyeenye za famire zammwe era n’obulamu obulungi mu bitundu byammwe butandika nammwe, mbasaba okusigala nga mukutte omumuli gw’obulamu obulungi n’okumalawo mukenenya omwaka 2030 we gunaatuukira, ku lunaku luno olw’okwefumiitiriza ku bulwadde buno 2019.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.