TOP

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya

By Lilian Nalubega

Added 23rd January 2020

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Nsamba22pulaaniusewebuse 703x422

Omuwanika w'ekika, ng'alaga pulaani y'ekiggwa eneemalawo obukadde obusoba mu 130

Bya Lilian Nalubega

Bazzukulu ba Nsamba abeddira Engabi balamaze ku butaka bwabwe e Buwanda omutaka Nsamba n'abakuutira omwaka guno bagutambulize ku mulamwa ogw'okuba obumu n'okukola ennyo basobole okutuuka ku nkulaakulana ey'omuggundu.

 samba mu mbugo ne lubuga we ku ddyo mu lukiiko Nsamba (mu mbugo) ne lubuga we (ku ddyo) mu lukiiko

 

Omutaka Aloysius Magandaazi Nsamba owa 31, yagambye nti ng’ajaguza emyaka ebiri ku bwa Nsamba wa kwettanira okulaba ng’abavubuka bayiga okuba abakozi nga batwala ekyokulabirako ky'abo abaliko bye bakoze olw'ekika kyabwe ate nabo ng’abantu ne ku lw'eggwanga lyabwe.

"Mwettanire obukozi mweggyemu omuze gw'okwagala okugabana bye mutakoleredde ate abakuze mu myaka muzaale abaana mwaze Ekika. Tewali ayinza kuteekerateekera kyatalina noolwekyo eky'okuteekerateekera amaka gammwe nga temulina be muteekerateekera mukyewale," Omutaka Nsamba bwe yabakuutidde wakati mu nnamungi w'abazzukulu abeeyiye ku butaka nga bano era yabasabye beenyigire mu by'obufuzi ebibindabinda.

 baamasiga nga balamusa omukulu wekika u ddyo ye wessiga uwonge ekika gwe kimanyi mu butongole ate ku kkono mu ssuuti eya bbululu ye yeeyise uwonge eyawakanyiziddwa Abaamasiga nga balamusa omukulu w'ekika. Ku ddyo, ye w'essiga Muwonge ekika gwe kimanyi mu butongole ate ku kkono mu ssuuti eya bbululu, ye yeeyise Muwonge eyawakanyiziddwa

 

Abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo okuva ku mpya okutuuka ku Masiga baabaddewo mu bungi nga babugiriza Omutaka Nsamba.

Abazzukulu baasambaganidde ku butaka nga n'abamu baafuuye bazzukulu bannaabwe ne Jjajja bwe ensimbi olw'amazina bakira ge bafukumula.

 bazzukulu nga basambagala ne jjajja bwe samba gwe baafuuye ne ssente Abazzukulu nga basambagala ne jjajja bwe Nsamba gwe baafuuye ne ssente

 

Omukolo gwetabiddwaako Omutaka Mayega Kyeyune, Omukulu w'ekika ky'ennyonyi Nakinsige eyasabye bazzukulu ba Nsamba okwenyigira mu nteekateeka ez'okutumbula ekika nga bakola emirimu egibatwala mu maaso.

 mukulu wekika kyennyonyi yeyune naye yabaddeyo ku mukolo Omukulu w'ekika ky'ennyonyi, Kyeyune naye yabaddeyo ku mukolo

 

Ebimu ku by’asinze okusanyusa abazzukulu kwe kulaba ku bantu be balanya bulijjo okuva ku nnyiriri n'abalala nga gwe gwabadde omulundi gwabwe ogwasoose okulaba ku Nsamba, omukulu w'ekika era baabinuse ne bamufuuwa n'ensimbi naye bwe yabeegasseeko okusambagala.

 bamu ku bazzukulu abaabaddewo Abamu ku bazzukulu abaabaddewo

 

Sheikh Guggwa alaalise abataagaliza Mutaka Nsamba kukulembera Kika

Abasiraamu omwaka guno be baakulembeddemu okusabira ekika nga Sheikh Ausi Guggwa Lubega eyakulembedde ekibinja kya bamaseeka okuva e Kibuli yalabudde abeesomye okulemesa Omutaka Magandaazi okuddukanya Ekika nti, waakubasomera edduwa ya kaamulali bayige essomo.

 heikh uggwa afukamidde ngalamusa omutaka samba Sheikh Guggwa (afukamidde) ng'alamusa omutaka Nsamba

 

"Obumulumulu, enkwe, okwesosola, n'ebiringa ebyo biggwe kubanga tuli kika kimu era tulina okuba omuntu omu, bino eby'okuvumagana tulina okubikomya," Sheikh Guggwa bwe yagambye n'asaba Omutaka Nsamba n'olukiiko lw'ekika olukulembeze bamusse ku lukiiko olukozi lw'emirimu naye atandike okuweereza Ekika kye.

 mutaka samba ngalambuza omutaka yeyune amuddiridde ku ddy owennyonyi olwazi  lwe uwanda Omutaka Nsamba ng'alambuza omutaka Kyeyune (amuddiridde ku ddyo) ow'ennyonyi olwazi lw'e Buwanda

 

Ab'Essiga lya Muwonge bakubaganidde empawa mu maaso ga Nsamba ku Muwonge omutuufu

Mu kulamaga kuno, omutaka Daniel Kamoga ow'essiga Muwonge e Jjalamba mu Mawokota yasanze okusoomoozebwa omu ku bazzukulu mu ssiga lye bwe yeeyanjudde wakati mu bazzukulu nti, ye mukulu w'essiga lino.

Kino kyawalirizza Ssentebe w'abaamasiga, ow'essiga Mulindwa okukkaatiriza ng’alaga Kamoga nga ow'essiga amanyiddwa mu Kika era n'alabula abalina obumulumulu okugenda mu lukiiko lw'Ekika babumalirize okusinga okuleeta akajagalalo mu bazzukulu.

 bimu ku birabo ebyaweereddwa samba Ebimu ku birabo ebyaweereddwa Nsamba

 

Amasiga gasaliddwa omutemwa ogw'okuwaayo mu Kika buli mwaka

Okusinziira ku mumyuka owookubiri owa Katikkiro w'Ekika, Yosefu Iga ku pulaani eyakoleddwa ekika kyetaaga ssente obukadde 130,600,000/- buli mwaka nga buli ssiga lyakuwaayo 1,000,000/- buli mwaka okuwagira enteekateeka ez'enjawulo ezassiddwaawo okuzimba obutaka.

 bazzukulu nga bawaga okukuuma obumu Abazzukulu nga bawaga okukuuma obumu

 

Baakusookera ku kuzimba ennyumba y'obwa Nsamba egenda okuddaabirizibwa kyokka esigale mu kitiibwa kyayo n'ettutumu by'ebadde nabyo okuva mu 1912 lwe yazimbibwa.

Kuno baakugattako okuzimba ekigango ekinaatuuza abantu 2,000, okuzimba effumbiro ery'omulembe, okuteekawo ekifo ky'abalambuzi mwe bawummulira, kaabuyonjo ez'omulembe zizimbibwe ate n'okusembeza amazzi ag'emidumu ku butaka.

Bano era baakwetaaga ensimbi ezigenda okukola ku nsonga z'emisango mu kika, okusasula abaweereza mu mirimu egitali gimu, n'ebirala.

 atikkiro wa samba onstantino ulyanga nga ayogera eri abeetabye mu kulamaga Katikkiro wa Nsamba Constantino Mulyanga nga ayogera eri abeetabye mu kulamaga

 

Katikkiro w'ekika, Omutaka Constantino Mulyanga Kiwano ow'essiga Ssemaganda e Ssese abazzukulu yabakubirizza okukuuma obulamu bwabwe okukwata obudde mu buli bye bakola ate n'okuba abayonjo nga balabira ku Basiraamu abanaaba emirundi emingi buli kadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...