TOP

Eyazimba amalaalo omutali mufu bagamusimuzza

By Musasi Wa

Added 15th March 2012

OMUSAJJA agambibwa okusima entaana n’agizimba ng’amalaalo nga temuli mufu, abooluganda bamutabukidde ne bagimuziikuza.

2012 3largeimg215 mar 2012 101129947 703x422

Bya Frederick Kiwanuka         

OMUSAJJA agambibwa okusima entaana n’agizimba ng’amalaalo nga temuli mufu, abooluganda bamutabukidde ne bagimuziikuza.

Ssaalongo Mayambala, gwe baalumirizza okuziikamu amayembe agabatigomya  baamuwalirizza okuwaayo akakadde ka ssente, embuzi bbiri ne sseggwanga bbiri ebyaweereddwa abasamize abaawomye omutwe mu mulimu gw’okubomola entaana ey’ekiwaani gye yazimba ku biggya by’ekika.

Bino byabadde mu maka g’omugenzi Eria Keesi Kisitu ku kyalo Ndagga ekisangibwa mu Ggombolola y’e Kikyusa mu ssaza ly’e Bamunaanika.

Kigambibwa nti omugenzi Kisitu  yafa mu ngeri etaategeerekeka ng’abatuuze n’abekika bbateebereza  nti yafa mayembe.
Bawala b’omugenzi Kisitu,  okwabadde  Cissy Nalubwama ne Lydia Nabbumba baategeezezza nti baagenze ew’omusawo w’ekinnansi Mwanda Ssabasaba asangibwa e Kyankwanzi mu Kyaggwe, eyabategeezezza nga kitaabwe omuto Mayambala bwe yateeka amayembe mw’emu ku ntaana eziri ku kiggya ky’ekika.

Nalubwama ne Nabbumba baagambye nti Ssabasaba yabawadde amagezi bapangise abasawo abakwata amayembe, era bafune n’olukusa ku poliisi ebakkirize okusaanyawo entaana mwe bateebereza okuba amayembe.

Omukolo kw’okusima entaana ogwetabiddwaako poliisi gwasombodde abantu bangi  bakira abakuba Ssaalongo Mayambala olube nga bamulangira  obulogo.

Wabula Mayambala bakira abasawo gwe bazunza n’okubuuza akana n’akataano, yagambye nti entaana yagizimba nga kijjukizo ng’ayagala ajjuukirirengako mukadde we omu eyabulako amattire.

Ng’okumenya amalaalo tekunnatandika, abasawo abaakulembeddwaamu Yusuf Kasozi ne Mutyaba Muwanga baasoose ne basaba embuzi enzirugavu bbiri  ne sseggwanga bbiri, ezaasaddaakiddwa omusaayi ne gumansibwa mu luggya ne ku biggya.

Oluvannyuma ng’entaana emenyeddwa, abasawo baayiye amazzi n’eddagala  mu ttaka bakukunulayo ebintu bye baagambye nti gaabadde mayembe.

Mayambala abaserikale baagenze naye ne bamukuumira ku poliisi y’e Luweero, olw’okutya abantu abaabadde bataamye nga baagala okumutuusaako obulabe.

Omuduumizi wa poliisi mu Luweero, Samuel Bamuzibire yagambye nti Mayambala yamaze n’ateebwa ku poliisi  ku kakalu ka poliisi.

Eyazimba amalaalo omutali mufu bagamusimuzza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa1 220x290

Omuwala omulala bamuwambye ne bamutta...

OMUWALA omulala azuuliddwa ng’attiddwa mu bukambwe omulambo gwe ne bagusuula okumpi n’omwala e Namasuba mu Kikajjo....

Papa 220x290

Maama Fiina agulidde Abasiraamu...

ABASIRAAMU baweereddwa amagezi okukomya okulowooleza mu kulwanagana ng’engeri yokka ey’okumalawo obutakkaanya nga...

Stella 220x290

Stella Nyanzi agobye abamweyimirira:...

STELLA Nyanzi yeecwacwanidde ku kkooti ya Buganda Road n’agaana mikwano gye n’aba famire ye okuddamu okumweyimirira...

Funayo1 220x290

Abawaabi ba Gav't beegayiridde...

ABAWAABI wa gavumenti mu musango gwa Kitatta beegayiridde kkooti y’amagye e Makindye esingise Kitatta ne banne...

Goba 220x290

Emisota gigobye Pulezidenti wa...

EBYEWUUNYISA tebiggwa mu nsi. Emisota egyagobye Pulezidenti wa Liberia, George Weah mu ofiisi nakati gikyatabudde...