TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Oluva e Mbarara okudda e Isingiro lugenda kukolebwa

Oluva e Mbarara okudda e Isingiro lugenda kukolebwa

By Musasi Wa

Added 15th March 2012

ABAKOZESA oluguudo oluva mu kibuga Mbarara okugenda e Isingiro bandifuna akaseko ku matama oluvannyuma lw’ekitongole ekikola ku nguudo ekya UNRA okulangirira nga bwe bamalirizza entegeka z’okuluddaabiriza.

Bya Ali Wasswa

ABAKOZESA oluguudo oluva mu kibuga  Mbarara okugenda e Isingiro bandifuna akaseko ku matama oluvannyuma lw’ekitongole ekikola ku nguudo ekya UNRA okulangirira nga bwe bamalirizza entegeka z’okuluddaabiriza.

Omwogezi wa UNRA,  Dan Alinange eyasangiddwa mu ofiisi ye mu Kampala yategeezezza  nti omubalirizi wa Gavumenti yabakakasizza nti ensimbi ezaabalirirwa okuliyirira abagenda okukosebwa mu kukola oluguudo luno bwe zaafunise.

Yategeezezza nti ku ntandikwa y’omwezi ogujja  kkampuni y’Abachina egenda okukola oluguudo luno esuubirwa okubeera ng’etandise.

Abatuuze babadde beemulugunya nti okuva pulezidenti lwe yabasuubiza okubakolera oluguudo luno mu biseera bya kampeyini tewabadde kikolebwa ate nga mu kusooka baatwalayo ttulakita ezikola oluguudo  ne bazimbawo n’obuyumba omunaasula abanaakola oluguudo  kyokka akalulu bwe kaggwa ne biggyibwayo.

Oluguudo luno luyitako nnyo loole ezisomba naddala amatooke okugaggya mu bitundu by’e Isingiro ne Bukanga ate nga lutuuka ne ku nsalo ya  Uganda ne Tanzania  e Kigagati.
 

Oluva e Mbarara okudda e Isingiro lugenda kukolebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Leka 220x290

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya...

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation...

Fbimg15631781511232 220x290

Buubuno obukwakkulizo Bobi Wine...

OBUKWAKKULIZO Bobi Winebw’atadde ku Chameleone bwaddiridde enkiiko ez’enjawulo aba People Power ze baatuuzizza...

Kola 220x290

Obwavu bwamugabisa omwana wange...

KITUUFU obwavu tebukumanyisa akwagala. Omuwala yagabira omusajja alina ssente omwana wange. Nze Ronald Kakooza...