TOP

Abakubirizza ku kibiina ky’obwegassi

By Musasi Wa

Added 4th April 2012

RDC wa Ntungamo, Peter Rwakifari agambye nti enkola y’ekibiina ky’obwegassi ekya Abateganda-Ntungamo Growers Cooperative Society Limited ekulembeza obwenkanya n’enkulaakulana, ebibiina ebirala birina okugiyigirako.

Bya Rwambuka Mugisha

RDC wa Ntungamo, Peter Rwakifari agambye nti enkola y’ekibiina ky’obwegassi ekya Abateganda-Ntungamo Growers Cooperative Society Limited ekulembeza obwenkanya n’enkulaakulana, ebibiina ebirala birina okugiyigirako.

Bino yabitegeezezza bwe yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’ekibiina kino ekyatuuzizza olukiiko olw’omulundi ogwa 46 e Kafunjo okumpi n’ekkung’aanyizo ly’amata  erya  Ntungamo Diary Farmers Union.

Rwakifari  yagambye nti ekiraga nti ekibiina kino kiri ku mulamwa bwe buwangaazi bwe kituuseeko nga binnaakyo omuli n’ekya Banyankole Kweterana ekyakizaala byaggwawo dda.

Abantu  34  be baayingiziddwa nga bammemba abajjuvu nga kati bonna awamu bali 627.

Ate Ssentebe wa  LC 5, Ntungamo, Dennis Singahache yawadde abalimi mu kibiina kino amagezi okukozesa obukodyo obw’omulembe basobole okukungula okusingako kati.

Yabasiimye olw’enkulaakulana naddala olw’okuzimba ekifo ewaterekerwa ebirime n’ekifo ewateesezebwa.

Abakubirizza ku kibiina ky’obwegassi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako