TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. eneekangavvula abaleeta ebintu ebitali ku mutindo

Gavt. eneekangavvula abaleeta ebintu ebitali ku mutindo

By Musasi Wa

Added 4th April 2012

MINISITA akola ku by’obusuubuzi, Muky. Ameria Kyambadde alabudde nti Gavumenti yaakukangavvula abantu abaleeta ebintu ebitali ku mutindo n’ebijingirire mu ggwanga.

2012 4largeimg204 apr 2012 140416890 703x422

Bya  Ali Wasswa

MINISITA akola ku by’obusuubuzi,  Muky.  Ameria Kyambadde alabudde nti Gavumenti yaakukangavvula abantu abaleeta ebintu ebitali ku mutindo n’ebijingirire mu ggwanga.

Muky. Kyambadde yategeezezza nti waliwo abamu ku bakozi b’ekitongole ekikola ku mutindo gw’ebintu  (UNBS) abasibye omutindo gw’ebintu ogwa wansi mu ggwanga. N’agamba nti mu bino mulimu; engoye,  ebyamasannyalaze,   leediyo,  amasimu, engatto, ebizigo, eby’okunywa ng’amazzi  n’ebirala.

Yabyogeredde  ku mukolo aba Disitulikiti y’e Sheema bwe baabadde batongoza  ekibiina kya Mashruka Women SACCO okuyamba  abakyala okwegobako obwavu.

Ng’azze ku mulamwa gw’olunaku ogukwata ku mwana omuwala okulaba ng’asoma n’obutatuusibwako bulabe ng’okufumbizibwa nga tanneetuuka n’okusobezebwako, yagambye nti  agenda kulaba ng’etteeka ku nsonga z’amaka liyisibwa kuba bangi  ku baana abawala n’abakyala bakyatulugunyizibwa.

Omubaka omukazi owa Disitulikiti y’e  Sheema,  Rose  Mary Nyakikongolo yasabye Muky. Kyambadde okutuusa obubaka eri Pulezidenti okulaba ng’abantu b’omu bitundu bya Sheema ne Buhwezu bafunirwa amazzi,  amasannyalaze  n’enguudo ennungi.

Yategeezezza nti abantu era beetaaga okubangulwa mu by’obulunzi n’ebyobulimi nti kuba obwavu bubasensedde nnyo. 
Omubaka wa Palamenti owa Sheema North,  Dr. Eliod Tumwesigye yagumizza abavubuka ng’obukwakkulizo bwonna obwali buteereddwa ku nsimbi z’abavubuka bwe bugenze bukolwako nga kati  baddembe okuzisaba beegobeko obwavu.             

Gavt. eneekangavvula abaleeta ebintu ebitali ku mutindo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.