TOP

Temufumbirira misango ku bantu- Bp. Lwanga

By Musasi Wa

Added 4th April 2012

Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu ery’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alumbye ebitongole ebikessi obutamala gafumbirira misango ku bantu ne basibwa nga tebalina misango.

2012 4largeimg204 apr 2012 141926317 703x422

Bya Ali Wasswa

Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu ery’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito  Lwanga  alumbye  ebitongole ebikessi obutamala gafumbirira misango  ku bantu ne basibwa nga tebalina misango.

Ssaabasumba yategeezezza nti  era  waliwo n’ebimu ku bitongole by’amawulire ebimala  gawandiika bintu ebitali bituufu okukyayisa n’okukwasa abalala. 

Yategeezezza nti kya nnaku okusanga nga waliwo abantu abali mu makomera nga n’abamu balindiridde okuwanikibwa ku kalabba kyokka ng’abazza  emisango  bali wabweru bayinaayina.

Bino yabyogeredde mu kusoma mmisa ku lw’Amatabi awamu n’okukuza olunaku lwa Caritas  ku ssaza ly’e Nyamitanga mu Mbarara.  Ssaabasumba yategeezezza nti okwagalana kye kintu Yesu kye yalekera abagoberezi be n’olwekyo tukisse mu nkola.

Yanokoddeyo ebyaliwo ku mulembe gwa Amin abantu bwe baabuzibwangawo ekyawaliriza  abamu okuwang’anguka mu Uganda olw’abali  mu bitongole bya bambega  okubasibako  emisango gy’obuyeekera nga n’abamu baali bannaddiini.

Omumyuka wa Pulezidenti, Edward Ssekandi nga naye yeetabye mu kusaba kuno ku lwa Gavumenti, yalabudde abantu  okwewala abagezaako okubazza mu butabanguko n’okwekalakaasa.  Yasiimye ekitongole kya Caritas Uganda olw’okudduukirira abantu okusobola okwekulaakulanya.

Omukolo gwetabiddwako  abasumba owa Kasese n’abalala nga gwakuliddwa Ssaabasumba w’essaza ly’e Nyamitanga, Paulo Bakyenga.
 

Temufumbirira misango ku bantu- Bp. Lwanga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.