TOP

Alidde obwannalulungi w’omu Bugwanjuba

By Musasi Wa

Added 18th April 2012

MAUREEN Aturinda, omuyizi mu Yunivasite y’e Mbarara ye yanywedde mu banne akendo bwe yalondeddwa ku bwa nnalulungi w’omu Bugwaanjuba.

Bya Fred Turyakira

MAUREEN Aturinda, omuyizi mu Yunivasite y’e Mbarara ye yanywedde mu banne akendo bwe yalondeddwa ku bwa nnalulungi w’omu Bugwaanjuba.

Aturinda asoma ebya Kompyuta (IT) y’omu ku bayizi omukaaga abeesimbyewo mu mpaka zino ezaabadde e Mbarara ezaagendereddwa okunoonyezaamu anaalya obwa Miss Uganda 2012-2013.

Empaka zaategekeddwa aba REDS and SMS One mu kifo kya Big Fan Entertainment ku Booma Grounds e Mbarara.

Aturinda engule yamwambaziddwa Miss Uganda 2011-2012, Sylvia Namutebi. 

Aturinda yaddiriddwa Christine Komujuni ate Jennipher Kayesu yabadde waakusatu.

Brenda Nanyonga omuteesiteesi w’empaka zino yagambye nti Aturinda ne Komujuni be bamu ku bagenda okwetaba mu mpaka za Miss Uganda 2012-2013 ezigenda okubeerawo mu September mu Serena Hotel mu Kampala.

Abategesi b’empaka zino baakubuna ebifo ebyenjawulo mu Uganda okulonda abaneetaba mu mpaka za Miss Uganda.

Abayimbi omuli Coco Finger, Tonix n’abalala be baasanyusizza abantu.

Mu kifaananyi, Aturinda (atudde wakati). Ku ddyo ye Komujuni ate ku kkono ye Kayesu. Ayimiridde ataddeko engule ye Namutebi ng’ayambaza omuwanguzi engule.


 

Alidde obwannalulungi w’omu Bugwanjuba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...