TOP

Bamusse lwa kubawa ddagala lya ‘kiwaani’

By Musasi Wa

Added 18th April 2012

ABATUUZE baatabukidde omusamize gwe babadde balumiriza okubaguza eddagala ng’abasuubizza okubagaggawaza kyokka ne basigala nga baavu, bwe baamukubye emiggo egyamusse.

Bya RWAMBUKA MUGISHA

ABATUUZE baatabukidde omusamize gwe babadde balumiriza okubaguza eddagala ng’abasuubizza okubagaggawaza kyokka ne basigala nga baavu, bwe baamukubye emiggo egyamusse.

Baasoose kumulabiriza ng’ali mu nnyumba ye ne bagikumako omuliro era yabadde adduka awone ekibabu kwe kumugoba ne bamukwata ne bamukuba okutuusa lwe baamusse.

Kino kiddiridde abamu ku batuuze b’oku kyalo Kyenkunku mu ggombolola y’e Kagarama mu disitulikiti y’e Ntungamo okulumba mutuuze munnaabwe abadde amanyiddwa nga Muzeeyi Kakuba ne bamukuba ne bamutta nga bamulumiriza okubaguzanga eddagala erigaba obugagga lye baayise ‘ery’ekiwaani’ ku nsimbi ennyingi kyokka nga buli olukya bongera kwavuwala.

Abatuuze abamu baalumirizza Kakuba nti alina ebyokoola ebimanyiddwa ng’Omuteego by’asindikira abantu ne bibatirimbula era abamu nga bagamba nti bisinga kutta baana b’oku kitundu.

Poliisi yasindise abaserikale baayo okukola okunoonyereza n’okukwata abantu abateeberezebwa okwenyigira mu kutta Kakuba, kyokka abasinga badduse ku kyalo nga batya okukwatibwa olw’okutwalira amateeka mu ngalo ne batta munnaabwe.

Bamusse lwa kubawa ddagala lya ‘kiwaani’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe